LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 4/01 lup. 3
  • ‘Weemalire Nnyo’ ku Buweereza Bwo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Weemalire Nnyo’ ku Buweereza Bwo
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Similar Material
  • Apuli—Kiseera ‘Tukole n’Amaanyi n’Okufuba’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Tuyinza Okufuula Apuli 2000 Omwezi Gwaffe Ogukyasinzeeyo Okuba Omulungi?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Nyiikira Okukola Ebirungi!
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • “Tubakolenga Obulungi Bonna”
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
km 4/01 lup. 3

‘Weemalire Nnyo’ ku Buweereza Bwo

1 Bwe tusoma nti omutume Pawulo yakolanga eweema ng’ali e Kkolinso, tuyinza okugamba nti kino kyakendeeza ku mikisa gye egy’okubuulira. Kyokka, Ebikolwa 18:5 wagamba: ‘Pawulo ne yeemalira ku kutegeeza abantu ekigambo, ng’ategeeza Abayudaaya nti Yesu ye Kristo.’ Lwaki Pawulo yeemalira nnyo ku mulimu gw’okubuulira? Wadde nga bangi mu Kkolinso baali baafuuka dda abakkiriza, Mukama waffe yakiggumiza nti waali wakyaliyo bangi mu kibuga ekyo ab’okufuulibwa abayigirizwa. (Bik. 18:8-11) Tulina ensonga efaananako n’eyo okwemalira ku buweereza bwaffe? Yee. Abantu abalala bangi bayinza okuzuulibwa era ne bayigirizibwa amazima.

2 Mu Apuli Waayo Ebiseera Ebisingawo mu Buweereza: Kiyinza okuba nga kye kiruubirirwa kyo okubeera omunyiikivu mu buweereza buli mwezi. Naye emyezi egimu gituwa emikisa egisingawo ‘okwemalira’ mu mulimu guno. Gino gitwaliramu omwezi gwa Apuli mu kiseera ky’Ekijjukizo. Embeera zo zikusoboseza okukola nga payoniya omuwagizi oba okwongera ku buweereza bwo mu mwezi guno? Ababuulizi bangi abakikola bafunye emikisa mingi nnyo. (2 Kol. 9:6) Bw’oba ng’okola kyonna ky’osobola, jjukira nti Yakuwa asanyukira obuweereza bwo bw’okola n’omutima gwo gwonna. (Luk. 21:2-4) K’obeere ng’oli mu mbeera ki, kifuule ekiruubirirwa kyo ‘okwemalira’ ku buweereza mu Apuli. Era teweerabira kuwaayo lipoota yo ey’obuweereza ku nkomerero y’omwezi okufuba kwo kusobole okugattibwa awamu n’okw’abantu ba Yakuwa abalala.

3 Kyalira Abappya Abaaliwo ku Kijjukizo: Omwaka oguwedde, mu nsi ttaano eziri wansi w’ettabi lyaffe, abantu abaaliwo ku Kijjukizo baali 98,077. Omuwendo gw’abo abanaabaawo ku Kijjukizo omwaka guno tegunnamanyika. Kyokka lipoota ziraga nti waliwo obusobozi bwa maanyi nnyo ‘obw’amakungula’ agasingawo obungi. (Mat. 9:37, 38) N’olwekyo, amangu ddala nga bwe kisoboka, kola enteekateeka okukyalira abaagazi b’amazima abaaliwo ku Kijjukizo obayambe mu by’omwoyo. Bw’otobakyalira mangu, kiyinza okuleetera ‘omubi okukwakkula ekigambo ky’Obwakabaka ekyasigibwa mu mitima gyabwe.’ (Mat. 13:19) Bw’obakyalira amangu kijja kulaga nti ddala ‘weemalira’ ku buweereza bwo.

4 Weeyongere Okuyamba Abatakyabuulira: Mu Febwali okufuba okw’enjawulo okw’okuyamba abatakyabuulira kwatandika. Bwe kiba nti waliwo abamu abatannaba kukyalirwa, abakadde basaanidde okukola enteekateeka babakyalire nga Apuli tannagwako. Abakadde bajja kugezaako okuzuula ensonga ereetera omuntu oyo obuzibu era n’engeri gye bayinza okumuyambamu okuddamu okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Obuyambi buno obw’okwagala bulaga nti abakadde batwala obuvunaanyizibwa bwabwe ng’abasumba ‘b’ekisibo kya Katonda’ nga bukulu. (1 Peet. 5:2; Bik. 20:28) The Watchtower aka Sebutemba 15, 1993, empapula 22-3 kawa amagezi amalungi ennyo abakadde ge bayinza okukozesa nga bakola ku bizibu ebitaano abatakyabuulira bye bayinza okuba nabyo. Kisoboka okuyamba abamu okuddamu okwenyigira mu buweereza mu Apuli.

5 Yamba Abalala Okufuuka Ababuulizi Abatali Babatize: Abaana bo batuukiriza ebisaanyizo by’okuweereza ng’ababuulizi abappya ab’amawulire amalungi? Naye ate abalala b’oyiga nabo Baibuli? Bwe kiba nti abakadde babakkiriza , Apuli tegwandibabeeredde kiseera kirungi okutandika okubuulira? Bwe kiba nti omuntu akulaakulana era ng’amaze okusoma brocuwa Atwetaagisa n’akatabo Okumanya, okumuyigiriza Baibuli kuyinza okweyongera mu kitabo eky’okubiri. Kiyinza okuba akatabo God’s Word, akatabo Emirembe n’Obutebenkevu eby’Amazima oba mu katabo United in Worship. Ekiruubirirwa kyo kwe kuyamba omuyizi okweyongera okutegeera amazima, okutuukiriza ebisaanyizo by’okukola ng’omubuulizi atali mubatize, era n’okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa eyeewaddeyo era omubatize.​—Baf. 3:17-19; 1 Tim. 1:12; 1 Peet. 3:21.

6 Okufuba obutayosa okuyamba n’okufaayo ku bayizi bo aba Baibuli kiyinza okubayamba okufuula amazima agaabwe. Omujulirwa omu yasanga abafumbo abakaddiye abakkiriza okuyiga Baibuli. Naye abafumbo abo baamala wiiki ssatu ez’omuddiriŋŋanwa nga tebayiga Baibuli. Oluvannyuma baddamu nate okuyiga Baibuli naye abafumbo bano baayimirizanga enteekateeka ey’okuyiga kumpi buli wiiki. Kyokka, ku nkomerero, omukyala yakulaakulana n’atuuka n’okubatizibwa. “Oluvannyuma ng’amaze okubatizibwa,” ow’oluganda agamba, “amaaso ge gajjula amaziga ag’essanyu, ekyaleeta amaziga ag’essanyu mu maaso ga mukazi wange ne mu gange.” Yee, “okwemalira” ku mawulire amalungi kireeta essanyu lingi nnyo!

7 Obunnabbi bw’omu Baibuli n’ebiriwo mu nsi biraga nti tuli wala nnyo mu nnaku ez’enkomerero. Kati kye kiseera abantu ba Katonda bonna “okwemalira” ku kumanyisa abalala amawulire amalungi. Omutume Pawulo awa obukakafu nti okufuba ng’okwo ddala “si kwa bwereere mu Mukama waffe.”​—1 Kol. 15:58.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share