LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 11/01 lup. 1
  • Weesige Yakuwa Okufuna Amaanyi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weesige Yakuwa Okufuna Amaanyi
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Similar Material
  • Yakuwa Awa Amaanyi Oyo Akooye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • “Munoonye Yakuwa n’Amaanyi Ge”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • “Ajja Kubafuula ba Maanyi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Yakuwa Ajja Kukuwa Amaanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
km 11/01 lup. 1

Weesige Yakuwa Okufuna Amaanyi

1 Waliwo ensonga nnyingi lwaki twetaaga okwesiga Yakuwa. Okubuulira amawulire amalungi “mu nsi zonna” si mulimu mwangu. (Mat. 24:14) Buli kiseera tulwanagana n’obutali butuukirivu bwaffe. (Bar. 7:21-23) Ate era ‘tumeggana n’emyoyo agy’amaanyi egifuga ensi eno eri mu kizikiza.’ (Bef. 6:11, 12) N’olwekyo, twetaaga obuyambi. Tuyinza tutya okufuna amaanyi okuva eri Yakuwa?

2 Okuyitira mu Kusaba: Yakuwa awa omwoyo gwe ogw’amaanyi eri abaweereza be abamusaba. (Luk. 11:13) Owulira nga teweekakasa kubuulira nnyumba ku nnyumba, okubuulira ng’oli ku luguudo, oba ku ssimu? Otya okubuulira embagirawo? Tokyali munyiikivu olw’okuba abantu b’omu kitundu ky’obuuliramu tebeefiirayo? Kiba kitya singa opikirizibwa okwekkiriranya okukkiriza kwo oba obugolokofu bwo? Weesige Yakuwa. Musabe akuwe amaanyi.​—Baf. 4:13.

3 Okuyitira mu Kweyigiriza: Nga bwe tufuna amaanyi olw’okulya emmere ey’omubiri, mu ngeri y’emu tuddamu amaanyi mu by’omwoyo bwe tulya obutayosa ku Kigambo kya Katonda awamu n’ebitabo ‘by’omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Mat. 4:4; 24:45) Stanley Jones bwe yabuuzibbwa ekyamuwa amaanyi okumala emyaka mingi ng’ali yekka mu kkomera mu China, era nga talina Baibuli, yagamba: “Tusobola okunywerera mu kukkiriza. Naye, kitwetaagisa okusooka okuyiga. Tetuyinza kubeera n’amaanyi bwe tutayiga.”

4 Bwe Tubeera mu Nkuŋŋaana: Mu lukuŋŋaana lw’Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka, Yuda ne Siira ‘baabuulira ab’oluganda mu bigambo bingi ne babagumya.’ (Bik. 15:32) Mu ngeri y’emu leero, bye tuwulira mu nkuŋŋaana bituleetera okwongera okusiima ennyo Yakuwa, bizimba okukkiriza kwaffe, era ne bitukubiriza n’okwenyigira mu buweereza. Enkuŋŋaana zitusobozesa okubeera awamu buli kiseera ‘ne bakozi bannaffe abatuzzaamu amaanyi nga tukola omulimu gw’Obwakabaka bwa Katonda.’​—Bak. 4:11.

5 Twetaaga obuyambi mu “biro bino eby’okulaba ennaku.” (2 Tim. 3:1) Ku bikwata ku abo abafuna amaanyi okuva eri Yakuwa, tukakasibwa: “Balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu; balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne batazirika.”​—Is. 40:31.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share