Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jjul. 15
“Olowooza ababi babonerezebwa mu hell? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli eraga bulungi nnyo ekibonerezo ky’ekibi. [Soma Abaruumi 6:23a.] Kati olwo hell kifo eky’omuliro eky’okubonererezaamu? Ye mbeera eraga nti omuntu ayawukanyiziddwa ne Katonda? Magazini eno eddamu ebibuuzo ebyo nga yeeyambisa Ebyawandiikibwa.”
Awake! Jjul. 22
“Abantu bangi okukuba zzaala tebakulabamu kabi konna. Naye ate abalala bakitwala okubeera eky’akabi eri amaka era n’eri abantu bonna okutwalira awamu. Magazini eno eya Awake! eyogera ku kukuba zzaala n’eraga n’ebyo abanoonyerezza ku nsonga eno bye bavumbudde. Era oyinza n’okwagala okumanya Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno.” Ng’ekyokulabirako, soma 1 Timoseewo 6:10.
The Watchtower Aug. 1
“Abantu bangi balowooza nti obulombolombo obwesigamiziddwa ku ndowooza enkyamu tebulina kabi konna. [Menyayo ekintu kimu oba bibiri ku ebyo ebiri mu kasanduuko akali ku lupapula 5.] Wali olowoozezzaako ku nsonga lwaki abantu balowooza bwe batyo? [Ng’amaze okubaako ky’addamu, soma 2 Abakkolinso 11:14.] Magazini eno eraga Baibuli ky’eyogera ku bulombolombo obukyamu.”
Awake! Agu. 8
“Abantu bangi beeraliikirivu olw’okweyongera kw’obumenyi bw’amateeka n’ebikolwa eby’obukambwe ebya bannalukalala. Oboolyawo okkiriziganya n’ebigambo ebiri mu Omubuulizi 8:9. [Soma era omuleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eya Awake! eraga eby’okuyiga bye tuyinza okufuna okuva ku bintu ebyaliwo edda era n’engeri ebintu ebyo ebibi gye binaggwaawo.”