Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti Olwa “Muwe Katonda Ekitiibwa”olw’Abajulirwa ba Yakuwa mu 2003
1 Okuyitira mu nnabbi we omwesigwa, Isaaya, Yakuwa yalagira: “Mumpulirize, mmwe abantu bange; era muntegere okutu, mmwe eggwanga lyange.” (Is. 51:4) Mu kiseera kino eky’enkomerero, ekiseera ekigenda kyeyongera okuzibuwala, tetukkiriza nti kikulu nnyo okusinga ne bwe kyali kibadde okukwata ebiragiro bya Yakuwa? Engeri emu mwe ‘tutegera Yakuwa okutu,’ kwe kugondera ekiragiro kye eky’okukuŋŋaana awamu okumusinza. Nga twesunga nnyo ebirungi ebiba mu nkuŋŋaana zaffe eza disitulikiti ezibaawo buli mwaka! Mu 2003 Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa kategese enkuŋŋaana za disitulikiti okubaawo mu bifo ebitali bimu mu kitundu kyaffe.
2 Nga bwe kiragibwa mu Watchtower aka Jjulaayi 1, 2002, abagenyi okuva mu nsi ez’enjawulo bajja kwetaba mu nkuŋŋaana z’ensi yonna ezijja okuba mu bibuga ebitali bimu ebirondeddwa. Olw’okuba bibuga bimu na bimu bye bijja okubaamu enkuŋŋaana z’ensi yonna, abanaagenda mu nkuŋŋaana ezo balina kuva mu bibiina ebyo byokka ebyalondebwa okuzigendamu. Nga bwe twategeezebwa emabega, abanaasembebwa okuva mu kitundu kyaffe okwetaba mu nkuŋŋaana z’ensi yonna bajja kugenda mu South Africa. Kyokka, n’abataabe mu nkuŋŋaana ezo bajja kunyumirwa mu ngeri y’emu ng’abo abanaaba mu nkuŋŋaana z’ensi yonna mu bitundu ebirala. Abaminsani bajja kubaawo mu nkuŋŋaana ezo mu bifo ebitali bimu, era wajja kubaawo omukisa okuwulira ebimu ku ebyo ebibatuuseeko oba bye bayiseemu. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu nkuŋŋaana ennene ezitegekebwa okubaawo?
3 Beerawo Buli Lunaku: Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu biriyigirizibwa okuyitira mu kibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi, tuteekwa okubaawo mu programu yonna ey’olukuŋŋaana. (Mat. 24:45) Kikwetaagisa okusaba mukama wo olukusa osobole okubaawo ku nnaku zonna ez’olukuŋŋaana? Nga Nekkemiya tannasaba Kabaka Alutagizerugizi okumuwa olukusa okugenda e Yerusaalemi okuzimba bbugwe wakyo, ‘yasaba Katonda w’eggulu.’ (Nek. 2:4) Mu ngeri y’emu, osaanidde okusaba Yakuwa akuwe obuvumu oyogere ne mukama wo akukkirize okuva ku mulimu osobole okubaawo ennaku zonna esatu ez’olukuŋŋaana. Kiba kitya singa mukama wo aba tayagala kukuwa lukusa? Oboolyawo, bw’omunnyonnyola nti bye tuyigirizibwa mu nkuŋŋaana zaffe bituyamba okubeera abeesigwa era abanyiikivu kiyinza okumuleetera okukuwa olukusa. Ate era, bwe tuba n’ab’omu maka abatali bakkiriza, kyandibadde kirungi okubategeeza ku nteekateeka zaffe ez’okugenda mu nkuŋŋaana ennene amangu ddala nga bwe kisoboka.
4 Kolagana n’Ekitongole ky’Eby’ensula: Ekitongole ky’eby’ensula kijja kufuba nnyo okufuna ebifo ebimala omulisuzibwa abalijja mu nkuŋŋaana ennene. Bw’oba nga wandyagadde kusula mu wooteeri, tegeeza ekitongole ky’eby’ensula nga bukyali, era bategeeze sente z’oyinza okusasulira buli muntu awamu n’ennaku ze munaamala mu wooteeri. Okukakasa nti banaakuterekera ekifo mu wooteeri, kiyinza okukwetaagisa okusasulako ku ssente. Bwe kiba bwe kityo, olina okuba omwetegefu okusasulayo ssente ezo.
5 Okuyamba Abo Abalina Obwetaavu obw’Enjawulo: Mu kibiina kyammwe mulimu abeetaaga okuyambibwa okugenda mu lukuŋŋaana olunene? Abo abalina obwetaavu obw’enjawulo, gamba nga bannamukadde, abalema oba abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, okusingira ddala bayambibwa ab’eŋŋanda zaabwe Abakristaayo, naye abakadde n’abalala abamanyi embeera zaabwe nabo bayinza okubayamba.
6 Akakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza kajja kwekenneenya foomu ababuulizi ze banaawaayo ezisabirwako abalina obwetaavu obw’enjawulo obw’aw’okusula. Nga bagoberera obulagirizi obuli ku foomu eyo, akakiiko k’obuweereza kalina okusalawo obanga ddala oyo gwe basabidde okuyambibwa mu ngeri ey’enjawulo tayinza kuyambibwa ba luganda ab’omu kitundu. Era enteekateeka eyo eganyula babuulizi ab’empisa ennungi bokka era n’abaana baabwe abalina empisa ennungi. Ab’Ekitongole ky’Eby’ensula bajja kutuukirira omuwandiisi singa banaaba n’ebibuuzo ebikwata ku kusaba okwo okw’enjawulo.
7 Okugenda mu Lukuŋŋaana Olulala: Embeera bw’eba ekwetaagisa okugenda mu lukuŋŋaana olulala olutali olwo ekibiina kyammwe lwe kirina okugendamu, era nga weetaaga n’aw’okusula, laba omuwandiisi w’ekibiina kyammwe ajja okukutegeeza gy’onoowandiika ebbaluwa ng’osaba okukufunira aw’okusula.
8 Tuli Ekyerolerwa: Abantu balaba enjawulo eri wakati w’Abajulirwa ba Yakuwa n’abantu mu nsi? Mazima ddala bagiraba! Weetegereze ebimu ku ebyo ebyayogerwa bamanejja mu kibuga ekimu: “Bulijjo abantu babeera n’enkuŋŋaana ennene mu kifo kyaffe, naye mwe musinze okuba ab’ekisa era abakolaganika nabo.” “Wiiki eyagwa, twalina ekibiina ky’eddiini ekyakuŋŋaanira mu kifo kino. Enjawulo eri wakati wammwe nabo erabikirawo.” “Bulijjo tuba bakakafu nti mujja kutuyamba era mukolagane naffe.” Ebigambo ng’ebyo tebituyamba okutegeera nti ‘amagezi agava waggulu’ gatuganyula? (Yak. 3:17) Okuva bwe tuli ‘ekyerolerwa mu nsi,’ ka enneeyisa yaffe buli kiseera eyoleke ekitiibwa kya Katonda waffe, Yakuwa.—1 Kol. 4:9.
9 Okuva ‘embeera y’ensi eno bw’ekyukakyuka,’ twetaaga enkuŋŋaana zaffe eza Disitulikiti okutuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo. (1 Kol. 7:31) Okukola enteekateeka okubaawo buli lunaku kyetaagisa okufuba, naye kivaamu emiganyulo. Omwaka guno, Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti Olwa “Muwe Katonda Ekitiibwa” lutegekeddwa okutuyamba okusigala nga tuli banywevu nga tulindirira okutuukirizibwa kw’omusango Yakuwa gw’asalidde ensi ya Setaani. Ka tuleme kukkiriza kintu kyonna okutulemesa okufuna okuyigirizibwa Yakuwa kw’atuteekeddeteekedde.—Is. 51:4, 5.
[Akasanduuko akali ku lupapula 3]
Ebiseera bya Programu
Olwokutaano n’Olwomukaaga
3:30 ez’oku makya - 11:00 ez’olweggulo
Ssande
3:30 ez’oku makya - 10:05 ez’olweggulo