Programu Empya ey’Olukuŋŋaana lw’Ekitundu
1 Mukama Waffe yalagula nti abagoberezi be bandyolekaganye n’okubonaabona. (Mat. 24:9) Ebigezo twandibitunuulidde tutya? Kiki ekinaatuyamba okugumiikiriza okubonaabona? Programu y’olukuŋŋaana lw’ekitundu olw’omwaka gw’obuweereza 2004, ejja kuddamu ebibuuzo ebyo. Omutwe gw’olukuŋŋaana olwo guli ‘Musanyukenga mu Kusuubira. Mugumiikirizenga mu Kubonaabona.’—Bar. 12:12.
2 Emboozi Ezikwatagana ez’Emirundi Ebiri: Emboozi ezikwatagana ezisooka ezirina omutwe, “Mubale Ebibala n’Obugumiikiriza,” zijja kulaga engeri gye tubalamu ebibala. Ababuulizi abawerako bajja kubuuzibwa ebibuuzo ebikwata ku ngeri gye banyiikiramu okubuulira n’okuyigiriza. Okusingira ddala abazadde bajja kwagala okussaayo omwoyo ku mboozi, “Bwe Tukangavvulwa Yakuwa,” ejja okulaga engeri abazadde gye bayinza okukubaganyaamu ebirowoozo n’abaana baabwe. Omwogezi asembayo mu mboozi ezikwatagana ajja kulaga kye tulina okukola okuziyiza ensi okututwaliriza n’etuleetera obutabala bibala.—Mak. 4:19.
3 “Mudduke Embiro n’Obugumiikiriza,” gwe mutwe gw’emboozi endala ezikwatagana. Zijja kulaga bulungi engeri gye tulinga abali mu mbiro mu bulamu bwaffe. Lwaki tulina okudduka nga tugoberera amateeka? Tusobola tutya okweggyako buli ekizitowa ne tutakoowa mu mbiro ez’obulamu? Okubuulirira okutuukirawo okuva mu Byawandiikibwa kujja kutuyamba okweyongera okudduka n’obugumiikiriza.
4 Obugumiikiriza Butuleetera Okusiimibwa Katonda: Emboozi omulabirizi ow’ekitundu z’anaawa, zijja kunyweza okukkiriza kw’abo abawuliriza era ne bassa mu nkola bye babuuliriddwa. Emu ku mboozi z’Omulabirizi wa disitulikiti erina omutwe, “Obugumiikiriza Butusobozesa Okusiimibwa.” Emboozi ya bonna ejja kuddamu ebibuuzo: Amawanga galina kusuubirira mu linnya ly’ani, era kiki ekizingirwa mu ekyo? Emboozi eneefundikira, “Mu Kugumiikiriza Kwammwe Mulifuna Obulamu Bwammwe,” ejja kulaga engeri Yesu gye yasobola okugumiikiriza n’atasunguwala bwe yayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya.
5 Mujjukire okuleeta ekitabo Benefit From Theocratic Ministry School ne Omunaala gw’Omukuumi aka wiiki eyo. Mubeeko ne bye muwandiika ebinaabayamba okussaayo omwoyo era bye mujja okukozesa mu biseera eby’omu maaso. Oluvannyuma, mu kibiina wajja kubaawo okwejjukanya ebyo ebinaabeera mu programu.
6 Yakuwa y’ateeseteese ekijjulo kino eky’emmere ey’eby’omwoyo. Mujje! Mulye! Tujja kuba basanyufu nnyo bwe tunaabeerawo mu programu yonna.—Is. 65:14.