Amagezi Agava eri Katonda ga Muwendo Nnyo
1 Abantu abamu balowooza nti Abajulirwa ba Yakuwa banditadde essira ku kuyamba abantu okuwewula ku bizibu bye balina leero. Abalinga ng’abo balemererwa okulaba omugaso ogw’okuyigiriza abantu Baibuli. Omutume Pawulo yaboogerako bw’ati: ‘Ebyogerwa ku muti ogw’okubonyaabonya bya busirusiru eri abo abaabula, naye eri ffe abalokolebwa ge maanyi ga Katonda.’ (1 Kol. 1:18, NW) Mu butuufu, tumanyi nti obuweereza obw’Ekikristaayo gwe mulimu ogusingayo obukulu ogukolebwa mu nsi leero.
2 Obulamu Obusingako Obulungi Kati: Okufuba kw’abantu okugonjoola ebizibu byabwe kuvuddemu emiganyulo mitono. Amateeka agabagiddwa tegasobodde kukomya kweyongera kw’obumenyi bw’amateeka. Endagaano z’emirembe era n’amagye amakuumi g’eddembe tegasobodde kumalawo ntalo. Enteekateeka ez’okuyamba abantu tezisobodde kumalawo bwavu. (Zab. 146:3, 4; Yer. 8:9) Okwawukana kw’ekyo, obubaka bw’Obwakabaka bukyusizza obulamu bw’abantu bukadde nabukadde nga bubayamba okwambala omuntu omuggya akkirizibwa Katonda. (Bar. 12:2; Bak. 3:9, 10) Olw’okukola ekyo, kati obulamu bwabwe bulongoose.—1 Tim. 4:8.
3 Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi: Ng’oggyeko okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu ebiriwo mu bulamu, amagezi agava eri Katonda gatusobozesa okwetegekera obulungi ebiseera eby’omu maaso. (Zab. 119:105) Gatuyamba obutayonoona biseera byaffe nga tugezaako okulongoosa embeera zino ez’ebintu. (Mub. 1:15; Bar. 8:20) Nga tuli basanyufu nnyo nti tetwonoona biseera byaffe nga tuluubirira ebintu ebitaliimu! Wabula, tumalira ebirowoozo byaffe ku kisuubizo kya Yakuwa ekikakafu ‘eky’eggulu eriggya n’ensi empya’ obutuukirivu mwe bulituula. Olunaku lwa Yakuwa olw’omusango bwe lunaatuuka, kijja kweyoleka kaati nti abo abeesiga amagezi agava eri Katonda baasalawo mu ngeri entuufu.—2 Peet. 3:10-13; Zab. 37:34.
4 Wadde ng’amagezi agava eri Katonda gayinza okulabika nga agatalina mugaso eri abo abeemalidde ku ‘magezi g’abantu,’ mu butuufu kya magezi okugagoberera. (1 Kol. 1:21; 2:6-8) N’olwekyo, tweyongera okulangirira obubaka mu nsi yonna obuva eri Katonda, “ow’amagezi omu yekka.”—Bar. 16:27.