Osobola Okuyamba Abalala?
1 Bulijjo Yakuwa ayagala okuyamba abaweereza be abeesigwa. (2 Byom. 16:9; Is. 41:10, 13) Ng’amugeraageranya ku musumba afaayo, Isaaya yawandiika: “Alikuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe, n’abasitula mu kifuba kye, aliyitiriza mpola ezo eziyonsa.” (Is. 40:11) Ka tulabe engeri gye tuyinza okukoppamu okwagala kwa Yakuwa.
2 Yamba Abappya: Tusobola okuzzaamu abappya amaanyi nga tubayita okutukyalirako. (Nge. 13:20) Ng’ajjukira engeri abalala gye baamuyambamu nga yakatandika okujja mu nkuŋŋaana z’ekibiina, ow’oluganda omu yagamba: “Emirundi mingi amaka agatali gamu gampitanga okubeerawo mu kuyiga kwabwe okw’amaka. Bwe nnagenda nkulaakulana mu by’omwoyo, omugogo gw’abafumbo abaali bakola nga ba payoniya bansabanga okubuulira nabo olunaku lwonna. Twanyumyanga nnyo ku bintu eby’omwoyo.” Yagattako: “Nga sinnafuuka Mukristaayo, buli Lwakutaano n’Olwomukaaga ekiro nnagendanga mu bya masanyu. Bwe nnatandika okubeera awamu n’ab’oluganda, nnali sikyetaaga kugenda mu bya masanyu.” Okufaayo ab’oluganda mu kibiina kwe baalaga ow’oluganda ono kwamuyamba okuba omunywevu mu kukkiriza era kati aweereza ku Beseri.—Bak. 2:6, 7.
3 Muzimbaganenga: Tuyinza okuyamba baganda baffe singa baba bali mu mbeera enzibu. Osobola okukola enteekateeka okubuulirako n’ow’oluganda omukosefukosefu nga mukozesa essimu oba n’omuyita akuwerekereko eri omuyizi wo owa Baibuli, oboolyawo ggwe n’otwala omuyizi wo ewuwe? Oyinza okuyamba ku muzadde alina abaana abato asobole okwenyigira mu kubuulira? Waliwo abawulira nga beetya era nga bandyetaaze okubawerekerako nga baddayo eri abo abaalaga okwagala oba okukola nabo mu ngeri endala ez’okubuulira? Okwagala kwe tulina eri baganda baffe, kujja kutukubiriza okubazimba.—Bar. 14:19.
4 Bwe tukoppa engeri Yakuwa gy’afaayo ku baweereza be, tujja kusobola okuzziŋŋanamu amaanyi, ekibiina kijja kubaamu okwagala era kiweese Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa.—Bef. 4:16.