LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 1/05 lup. 1
  • ‘Okuliisibwa Ebigambo eby’Okukkiriza’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Okuliisibwa Ebigambo eby’Okukkiriza’
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Similar Material
  • Enkuŋŋaana Ziganyula Abavubuka
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • ‘Awa Amaanyi Abakooye’
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Beera n’Enteekateeka Ennungi, Ofune Emikisa Ntoko
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Yakuwa Awa Amaanyi Oyo Akooye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 1/05 lup. 1

‘Okuliisibwa Ebigambo eby’Okukkiriza’

1 Okusobola okutambulira mu bulamu obw’okutya Katonda kyetaagisa okufuba okw’amaanyi ennyo. (1 Tim. 4:7-10) Singa twali ba kukikola mu maanyi gaffe, twandibadde tukoowa era ne tutendewererwa. (Is. 40:29-31) Engeri emu mwe tuyinza okufunira amaanyi agava eri Yakuwa kwe ‘kuliisibwa ebigambo eby’okukkiriza’​—1 Tim. 4:6.

2 Emmere Ennungi Ennyo ey’Eby’Omwoyo: Okuyitira mu Kigambo kye, awamu ‘n’omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ Yakuwa atuwa emmere ey’eby’omwoyo ennungi. (Mat. 24:45) Tufuba okugiganyulwamu? Tusoma Baibuli buli lunaku? Tutaddewo ebiseera eby’okwesomesa n’okufumiitiriza? (Zab. 1:2, 3) Emmere ennungi bw’etyo etuzzaamu nnyo amaanyi era n’etuwa obukuumi okuva ku mbeera z’ensi ya Setaani ezimalamu amaanyi. (1 Yok. 5:19) Bwe tujjuza ebirowoozo byaffe ebintu ebirungi era ne tubikolerako, Yakuwa ajja kuba wamu naffe.​—Baf. 4:8, 9.

3 Yakuwa era atuzzaamu amaanyi ng’ayitira mu nkuŋŋaana z’ekibiina. (Beb. 10:24, 25) Okuyigirizibwa okw’eby’omwoyo awamu n’emikwano emirungi bye tufunayo, bituyamba okunywera nga tugezesebwa. (1 Peet. 5:9, 10) Omuvubuka omu Omukristaayo yagamba: “Nsiiba ku ssomero, era ekyo kimmalamu nnyo amaanyi. Naye enkuŋŋaana zinzizaamu endasi ne mbeera ng’omuntu ali mu ddungu atuuse awali ensulo z’amazzi, ekyo ne kinsobozesa okuyita mu lunaku oluddako nga ndi munywevu.” Nga tuganyulwa nnyo bwe tufuba okubaawo mu nkuŋŋaana!

4 Okulangirira Amazima: Okubuulira abalala kwalinga eky’okulya eri Yesu. Kwamuzangamu nnyo amaanyi. (Yok. 4:32-34) Mu ngeri y’emu, bwe twogera n’abantu abalala ku bisuubizo bya Katonda eby’ekitalo, tuzzibwamu nnyo amaanyi. Okunyiikirira obuweereza kutuyamba okukuumira ebirowoozo byaffe ku Bwakabaka n’emikisa gye bunaatera okuleeta. Mazima ddala, ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi.​—Mat. 11:28-30.

5 Nga twesiimye nnyo olw’okuliisibwa emmere ey’eby’omwoyo ennungi Yakuwa gy’awa abantu be leero! Ka tweyongere okumutendereza n’essanyu.​—Is. 65:13, 14.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share