Nyiikira Okubuulira
1 Tuli mu biseera eby’okulaba ennaku. Obunyoolagano, entalo wakati w’amawanga, obutyabaga, n’ebintu ebirala eby’entiisa bicaase nnyo mu nsangi zino. Abantu beetaaga amawulire amalungi leero okusinga bwe kyali kibadde. Kyokka, abantu bangi tebaagala bintu bya mwoyo. Mu bitundu ebimu, kiyinza okuba ekizibu okusanga abantu awaka, oba abo abaagala okuwuliriza obubaka bwa Baibuli n’okugisoma. Wadde kiri kityo, kikulu nnyo ffe okunyiikira okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda.—Mat. 24:14.
2 Okwagala Abantu: Okubuulira kwaffe kwoleka okwagala Yakuwa kwalina eri abantu. “Tayagala muntu yenna [kuzikirizibwa] naye bonna batuuke okwenenya.” (2 Peet. 3:9; Ez. 33:11) N’olwekyo, okuyitira mu Yesu, yalagira nti, “enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna.” (Mak. 13:10) Katonda akubiriza abantu badde gy’ali bawone omusango ogugenda okusalirwa ensi ya Setaani. (Yo. 2:28, 29, 32; Zef. 2:2, 3) Tetuli basanyufu nti Yakuwa atwagaliza okuwonawo?—1 Tim. 1:12, 13.
3 Alipoota y’ensi yonna eraga nti mu mwaka gw’obuweereza 2004, abantu 6,085,387 be baayigirizibwanga Baibuli buli mwezi era abantu nga 5,000 be baabatizibwa buli wiiki! Abamu ku bappya bano abaabatizibwa baafunibwa olw’okuba Yakuwa yawa omukisa okufuba kw’ababuulizi abaayogeranga ne buli muntu ali mu kitundu mwe babuuliranga. Nga kino kireetedde ebibiina essanyu lingi, era nga nkizo ya maanyi okukolera awamu ne Katonda mu mulimu guno oguwonya obulamu!—1 Kol. 3:5, 6, 9.
4 Okutendereza Erinnya lya Katonda: Tunyiikira okubuulira tusobole okutendereza Yakuwa mu lujjudde n’okutukuza erinnya lye mu bantu bonna. (Beb. 13:15) Setaani abuzaabuzizza “ensi yonna” nti Katonda tasobola kugonjoola bizibu by’abantu, era nti tafaayo ku kubonaabona kwabwe oba nti taliiyo. (Kub. 12:9) Bwe tubuulira, tuba tulwanirira amazima agakwata ku Kitaffe ow’omu ggulu ow’ekitiibwa. Ka tweyongere okutendereza erinnya lye kati n’emirembe gyonna.—Zab. 145:1, 2.