Okubuulira Kutuyamba Okugumiikiriza
1 Ekigambo kya Katonda kitukubiriza ‘okudduka n’obugumiikiriza embiro eziteekeddwa mu maaso gaffe.’ (Beb. 12:1) Okufaananako omuddusi alina okugumiikiriza okusobola okutuuka ku buwanguzi, naffe tusaanidde okugumiikiriza okusobola okufuna ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo. (Beb. 10:36) Obuweereza bwaffe obw’Ekikristaayo buyinza butya okutuyamba okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero?—Mat. 24:13.
2 Tunywezebwa mu by’Omwoyo: Bwe tubuulira abantu ku kisuubizo eky’ekitalo ekikwata ku nsi empya ekiri mu Baibuli, kituyamba okuba n’essuubi ekkakafu ery’ebiseera eby’omu maaso. (1 Bas. 5:8) Bwe twennyigira mu buweereza bw’ennimiro obutayosa, tuba n’akakisa ak’okubuulira abalala amazima ge tuba tuyize mu Baibuli. Tuba n’omukisa gw’okunnyonnyola abalala enzikiriza zaffe, era ekyo kitusobozesa okunywera mu by’omwoyo.
3 Okusobola okuyigiriza abalala obulungi, naffe tuteekwa okuba nga tutegeera bulungi amazima ga Baibuli. Tulina okunoonyereza era ne tufumiitiriza ku ebyo bye tuba tusoma. Bwe tufuba okwesomesa, tumanya ebintu bingi, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera era ne tuddamu amaanyi mu by’omwoyo. (Nge. 2:3-5) N’olwekyo, bwe tufuba okuyamba abalala, naffe tweyongera okunywera mu by’omwoyo.—1 Tim. 4:15, 16.
4 Okunyiikirira obuweereza kye kimu ku ‘by’okulwanyisa bya Katonda’ bye twetaaga okusobola okulwanyisa Omulyolyomi ne badayimooni be. (Bef. 6:10-13, 15) Bwe tunyiikirira obuweereza, kituyamba okukuumira ebirowoozo byaffe bu bintu ebizimba era n’okwewala ebintu ebyonoona ebiri mu nsi ya Setaani. (Bak. 3:2 ) Bwe tuba tuyigiriza abalala amakubo ga Yakuwa, naffe twongera okumanya obukulu bw’okubeera n’empisa ennungi.—1 Peet. 2:12.
5 Katonda Atuwa Amaanyi: N’ekisembayo, bwe twenyigira mu mulimu guno ogw’okubuulira tuyiga okwesiga Yakuwa. (2 Kol. 4:1, 7) Ogwo nga mukisa gwa maanyi! Bwe twesiga Katonda, kituyamba okutuukiriza obuweereza bwaffe era n’okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo mu bulamu. (Baf. 4:11-13) Mazima ddala, okwesiga Yakuwa mu bujjuvu, kitusobozesa okugumiikiriza. (Zab. 55:22) Mu ngeri nnyingi, okubuulira kutuyamba okugumiikiriza.