Okozesa Obupapula Obuyita Abantu Okubaawo mu Nkuŋŋaana?
Lumu, omulenzi ow’emyaka 11 yalonda akapapula akayita abantu okubaawo mu lukuŋŋaana nga kaliko omutwe gw’emboozi eyali ekwata ku hell. Omulenzi oyo yagamba nti: “Ekyo kyankwatako nnyo, olw’okuba nnali nkola ebintu ebikyamu era nga nneeraliikirira nti bwe ndifa, nja kugenda mu muliro ogutazikira.” Yagenda n’awuliriza emboozi eyo, era mu mwaka nga gumu, oluvannyuma lw’okuyigirizibwa Baibuli emirundi egiwera, yabatizibwa. Eyo ye yali entandikwa y’obuweereza bwa Karl Klein obw’ekiseera kyonna, era oluvannyuma eyaweereza emyaka mingi ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa. Ekyamuyamba ke kapapula akayita abantu okubaawo mu nkuŋŋaana.
Ne leero, obupapula obuyita abantu okubaawo mu nkuŋŋaana bukozesebwa okutuusa amawulire amalungi ku bantu. Ababuulizi bangi bakisanze nti bwe bawa omuntu akapapula ako, kibasobozesa okweyanjula eri omuntu oyo era n’okutandika okunyumya naye. Abazadde basobola okubuulira n’abaana baabwe nga babawa obupapula obwo okubugabira abantu be baba basanze awaka. Abo ababuulira nga bakozesa ebbaluwa, basobola okuteeka akapapula ako mu bbaasa okuyita abantu okubaawo mu nkuŋŋaana. Ate era obupapula buno bwangu okukozesa okuyita abayizi ba Baibuli okubaawo mu nkuŋŋaana n’abalala abaagala okumanya ebisingawo.
Okozesa obupapula obuyita abantu okubaawo mu nkuŋŋaana?