Okwekenneenya Ebikwata Ku Lukuŋŋaana Olw’enjawulo Olw’olunaku Olumu
Ebibuuzo bino bya kukozesebwa mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza ng’olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu olwa 2006 lunaatera okutuuka era bikubaganyizibweko ebirowoozo amangu ddala nga lwakaggwa. Akubiriza akakiiko k’abakadde ajja kuteekateeka byekenneenyezebwe ng’agoberera ebiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Agusito 2004 olupapula 4. Mu kukubaganya ebirowoozo, ebibuuzo byonna birina okubuuzibwa ng’essira liteekebwa ku ngeri gye tuyinza okussa mu nkola bye twayiga mu lukuŋŋaana olwo.
EKITUNDU EKY’OKUMAKYA
1. Kitegeeza ki okuba n’eriiso eriraba awamu, era lwaki ekyo si kyangu leero? (“Lwaki Olina Okuba n’Eriiso Eriraba Awamu?”)
2. Tuganyulwa tutya bwe tuba n’eriiso eriraba awamu? (“Funa Emikisa Egiva mu Kuba n’Eriiso Eriraba Awamu”)
3. Kabi ki akali mu bintu bingi ebitwalibwa ng’ebya bulijjo? (“Okubeera n’Eriiso Eriraba Awamu mu nsi Embi”)
EKITUNDU EKY’OLWEGGULO
4. Abazadde awamu n’abalala bayinza batya okukubiriza abavubuka okuba n’ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo? (“Abazadde Abaluŋŋamya Obulungi Obusaale Bwabwe” ne “Abavubuka Abalina Ebiruubirirwa eby’Eby’Omwoyo”)
5. Tuyinza tutya okweyongera okutambulira awamu n’entegeka ya Yakuwa (a) ng’abantu kinnoomu (b) ng’amaka? (c) ng’ekibiina? (“Weeyongere Okutambulira Awamu n’Ekibiina kya Yakuwa”)