Kozesa Bulungi Ebiseera Byo
1 Okwagala okusanyusa Yakuwa kutukubiriza okukulembeza ebintu eby’eby’omwoyo. Ekigambo kye kitukubiriza ‘okusooka okunoonya obwakabaka’ ‘n’okukakasa nti tukola ebintu ebisingayo obukulu.’ (Mat. 6:33; Baf. 1:10, NW) Tuyinza tutya okugula ebiseera ebinaatusobozesa okukulembeza ebintu eby’Obwakabaka?—Bef. 5:15-17.
2 Kulembeza eby’Obwakabaka: Kola enteekateeka ebiseera byo oleme kubimalira ku bintu ebitali bikulu. Ng’omwezi gwakatandika, abamu balondawo ennaku n’ebiseera ebinaabasobozesa okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro. Ate era tebakkiriza bintu birala kutaataaganya nteekateeka yaabwe. Tusobola okukola ekintu kye kimu nga twegulira ebiseera okubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, okwesomesa n’okugenda mu nkuŋŋaana ennene. Bangi balina enteekateeka ey’okusoma Baibuli buli lunaku. Ssaawo ebiseera eby’okukoleramu buli kintu ekikulu era tokkiriza kintu kyonna kutaataaganya nteekateeka eyo.—Mub. 3:1; 1 Kol. 14:40.
3 Tomalira Biseera Byo ku Bintu bya Nsi: Mu nsi nnyingi, eby’emizannyo, eby’okwesanyusaamu awamu n’ebirala, bibaawo ekiseera kyonna. Bangi bamala ebiseera bingi nga balaba ttivi oba nga bakozesa kompyuta. Kyokka, tewali kalungi konna kali mu kwemalira ku by’amasanyu ng’ebyo ebiri mu nsi. (1 Yok. 2:15-17) N’olwekyo, Ebyawandiikibwa bitukubiriza obutakozesa nnyo bintu bya mu nsi. (1 Kol. 7:31) Bw’ogoberera okubuulirira okwo okw’amagezi, oba olaga Yakuwa nti okusinza kwe kw’okulembeza mu bulamu bwo.—Mat. 6:19-21.
4 Wasigaddeyo ekiseera kitono nnyo enteekateeka y’ebintu eno okuzikirizibwa. Abo abakulembeza eby’Obwakabaka bajja kuba basanyufu era bajja kusiimibwa Katonda. (Nge. 8:32-35; Yak. 1:25) N’olwekyo, ka tukozese bulungi ebiseera byaffe.