Muzimbaganenga
1 Omutume Pawulo yakola kyonna kyasobola okuzzaamu bakkiriza banne amaanyi. (Bik. 14:19-22) Mu ngeri y’emu, baganda baffe bwe babeera mu mbeera enzibu, tubalumirirwa era ne tubayamba. Baibuli egamba nti abakadde si be bokka abalina obuvunaanyizibwa obw’okufaayo ku balala, wabula ffenna. (Bar. 15:1, 2) Weetegereze engeri bbiri eziyinza okutuyamba okugoberera okubuulirira kuno: “Musanyusaganenga era muzimbaganenga.”—1 Bas. 5:11.
2 Manya Ebyetaago by’Abalala: Ekigambo kya Katonda kiraga nti Doluka ‘yakoleranga abalala ebirungi.’ (Bik. 9:36, 39) Yalabanga abo abaali mu bwetaavu era n’akola kyonna ky’asobola okubayamba. Nga yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi! Oyinza okukimanya nti waliwo nnamukadde eyeetaaga okutwalibwako mu nkuŋŋaana. Oba wayinza okubaawo payoniya atalina muntu gw’abuulira naye mu biseera eby’olweggulo wakati mu wiiki. Lowooza ku ngeri omuntu ng’oyo gy’ayinza okuddamu amaanyi singa obaako ky’okolawo okumuyamba!
3 Okunyumya ku by’Omwoyo: Ate era tuyinza okuzimba abalala okuyitira mu bye twogera. (Bef. 4:29) Omukadde omu alina obumanyirivu yagamba: “Bw’oba oyagala okuzzaamu abalala amaanyi, yogera ku bintu eby’omwoyo. Okusobola okunyumya ku bintu ebizimba, oyinza okukozesa ekibuuzo nga kino, ‘Wayiga otya amazima?’” Faayo ku bavubuka abali mu kibiina. Faayo ku abo abaweddemu amaanyi n’abo abalina ensonyi. (Nge. 12:25) Tokkiriza mboozi ezikwata ku by’amasanyu g’ensi kukulemesa kunyumya ku bya mwoyo ne bakkiriza banno.—Bar. 1:11, 12.
4 Biki by’oyinza okwogerako okusobola okuzimba abalala? Bwe wabadde osoma Baibuli, olina omusingi gwe wasanze ogwakuleetedde okweyongera okwagala n’okusiima Yakuwa? Waliwo ekintu kye wawulidde mu mboozi ya bonna oba mu kuyiga Omunaala gw’Omukuumi ekyakuzizzaamu amaanyi? Oba waliwo ekyokulabirako kyonna ekirungi ekyakukutteko? Ebintu ng’ebyo eby’eby’omwoyo bw’obitwala nga bikulu, ojja kuba n’ebintu ebizzaamu amaanyi by’osobola okunyumyako n’abalala.—Nge. 2:1; Luk. 6:45.
5 Ka tweyongere okuzimbagana nga tuyamba abalala era nga tukozesa bulungi olulimi lwaffe.—Nge. 12:18.