LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 12/05 lup. 1
  • Obuyigirize Obutuyamba Okutuuka mu Bulamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obuyigirize Obutuyamba Okutuuka mu Bulamu
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Similar Material
  • Kya Muwendo Nnyo Okuyigirizibwa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Beera ‘Muddu wa Yakuwa’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 12/05 lup. 1

Obuyigirize Obutuyamba Okutuuka mu Bulamu

1 Nga kituzzaamu nnyo amaanyi bwe tulaba abantu nga basanyuse olw’okutegeera amazima agava mu Kigambo kya Katonda! Tuddamu amaanyi bwe tuyigiriza abalala ebikwata ku Katonda n’ekigendererwa kye eri abantu. Obuyigirize buno busobola okuyamba abantu okutuuka mu bulamu obutaggwaawo.​—Yok. 17:3.

2 Ensonga Lwaki bwa Kika kya Waggulu Nnyo: Abantu bayigirizibwa ebintu eby’enjawulo okuyitira mu mikutu mingi. (Mub. 12:12) Naye ebintu bye bayiga tebiyinza kugeraageranyizibwa ‘n’eby’ekitalo ebya Katonda.’ (Bik. 2:11) Obuyigirize bw’ensi busobodde okuyamba abantu okufuna enkolagana ennungi n’Omutonzi waabwe, era n’okumanya ebigendererwa bye? Bubayambye okutegeera ekyo ekibaawo bwe tufa, era n’ensonga lwaki waliwo okubonaabona kungi nnyo leero? Bubawadde essuubi? Busobodde okubayamba okulongoosa embeera y’amaka? N’akatono. Obuyigirize bwe tufuna okuva eri Katonda bwe bwokka obusobola okutuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo byaffe.

3 Obuyigirize Katonda bw’awa butusobozesa okufuna ekintu ekitaliiwo mu nsi leero, kwe kugamba, okuba n’empisa ennungi. Abo abakkiriza Ekigambo kya Katonda era ne bassa mu nkola okuyigiriza kwakyo balekeraawo okusosolagana mu langi, mu bika, ne mu mawanga. (Beb. 4:12) Kiyambye abantu okulekayo ebikolwa eby’ettemu ne ‘bambala omuntu omuggya.’ (Bak. 3:9-11; Mi. 4:1-3) Ate era, kibasobozesezza okweggyamu emize era n’engeri ezitasanyusa Katonda ebyali bisimbye amakanda mu bulamu bwabwe.​—1 Kol. 6:9-11.

4 Lwaki Bwetaagisa Nnyo Kati: Omuyigiriza Omukulu atuyamba okutegeera amakulu g’ebiseera bye tulimu. Ekigambo kye eky’obunnabbi kirimu obubaka bwe tulina okulangirira mu nsi yonna. (Kub. 14:6, 7) Kitulaga nti Kristo kati afugira mu ggulu, nti eddiini ez’obulimba zinaatera okusaanyizibwawo era nti Obwakabaka bwa Katonda buli kumpi okuzikiriza gavumenti z’ensi. (Dan. 2:44; Kub. 11:15; 17:16) N’olwekyo, kikulu nnyo abantu okutegeera Kabaka Katonda gw’alonze okufuga, okufuluma Babulooni Ekinene, era n’okukoowoola erinnya lya Yakuwa amangu ddala nga bwe kisoboka. (Zab. 2:11, 12; Bar. 10:13; Kub. 18:4) Ka twenyigire mu bujjuvu mu mulimu ogw’okuyigiriza abalala ebyo ebinaabasobozesa okutuuka mu bulamu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share