Tube Bavumu Naye nga Tuli ba Mirembe
1 Abantu bangi be tubuulira boogera ku bintu bye bakkiririzaamu n’obwesimbu naye nga bikontana ne Baibuli. Wadde nga tulina okubuulira n’obuvumu, twandyagadde ‘okuba ab’emirembe n’abantu bonna’ era n’okwewala okubanyiiza. (Bar. 12:18; Bik. 4:29) Tusobola tutya okuba abavumu naye ab’emirembe nga tubuulira amawulire g’Obwakabaka?
2 Yogera ku Bintu bye Mukkiriziganyaako: Omuntu ow’emirembe yeewala empaka. Bwe tuwakanya omuntu ku kintu ky’akkiririzaamu ennyo kimuleetera obutayagala kutuwuliriza. Bw’aba ayogedde ekikyamu, mu ngeri ey’amagezi tuyinza okuleetawo ensonga endala gye tukkiriziganyaako. Essira bwe tulissa ku bye tukkiriziganyaako, kiyinza okukyusa omutima gwe n’awuliriza.
3 Omuntu bw’ayogera ekikyamu ne tutamuwakanya, kitegeeza nti tuba twekkiriranyizza? Nedda. Obuvunaanyizibwa bwaffe ng’Abakristaayo, kwe kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda so si kuwakanya buli kintu kikyamu ekiba kyogeddwa. (Mat. 24:14) Mu kifo ky’okuva mu mbeera ng’omuntu alina ekikyamu ky’ayogedde, twandikatutte ng’akakisa ak’okutegeera endowooza ye.—Nge. 16:23.
4 Tobaweebuula: Oluusi tulina okuba abavumu nga twanika enjigiriza enkyamu. Kyokka, ng’abantu ab’emirembe, twewala okujerega oba okukozesa ebigambo ebifeebya abo abayigiriza ebikyamu n’abakkiririzaamu. Okwetwalira waggulu kireetera abalala okutwewala, so ng’ate okulaga obuwombeefu n’ekisa biyamba abaagala amazima okutuwuliriza. Bwe tussa ekitiibwa mu batuwuliriza n’enzikiriza zaabwe, kibanguyira okukkiriza obubaka bwaffe.
5 Omutume Pawulo yafaayo okumanya enzikiriza z’abo be yabuuliranga era n’anoonya engeri y’okubatuuka ku mitima ng’ababuulira amawulire amalungi. (Bik. 17:22-31) ‘Yafuuka byonna eri bonna alyoke alokolenga abamu.’ (1 Kol. 9:22) Naffe tuyinza okukola kye kimu nga tuba ba mirembe wadde nga tubuulira amawulire amalungi n’obuvumu.