Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa mu 2008
1. (a) Lwaki okubuulirira kwa Pawulo eri Abakristaayo Abaebbulaniya kwa muganyulo nnyo leero? (Soma Abaebbulaniya 10:24, 25.) (b) Kakisa ki ke tujja okufuna akanaatusobozesa okussa mu nkola okubuulira kwa Pawulo?
1 Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo Abaebbulaniya okukuŋŋaananga awamu era ‘n’okweyongera’ okuzziŋŋanamu amaanyi okuva bwe kiri nti olunaku luli lwali lugenda lusembera. (Beb. 10:24, 25) Waliwo obukakafu bungi obulaga nti “olunaku” Pawulo lwe yayogerako luli kumpi okutuuka! N’olwekyo, twesunga nnyo okufuna akakisa ak’okukuŋŋaana awamu n’ab’oluganda tusobole okuweebwa obulagirizi obw’eby’omwoyo obunaatuyamba okuyita mu ‘nnaku zino embi ez’oluvannyuma.’ (2 Tim. 3:1) Tujja kufuna akakisa ako mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwa 2008.
2. (a) Lwaki kikulu nnyo okubaawo ennaku zonna esatu ez’olukuŋŋaana lwa disitulikiti? (b) Nteekateeka ki ze tuyinza okutandika okukola ezinaatusobozesa okubeerawo mu lukuŋŋaana olwo?
2 Beerawo Ennaku Zonna Essatu: Tukukubiriza okubaawo ennaku zonna esatu. Singa ‘tukuŋŋaana awamu obutayosa,’ tetujja kusubwa mmere ey’eby’omwoyo etutegekeddwa. (Beb. 10:25) Tandika okukola enteekateeka amangu ddala nga bwe kisoboka. Kijja kukwetaagisa okusaba olukusa nga bukyali okuva eri oyo akukozesa, kimusobozese okukola enteekateeka ezeetaagisa. Bwe kiba nti mu kiseera eky’olukuŋŋaana lwa disitulikiti abaana bo bajja kuba basoma, saba abasomesa baabwe babakkirize okubaawo mu lukuŋŋaana olwo. Bategeeze nti enkuŋŋaana ennene eza buli mwaka kitundu kikulu eky’okusinza kwammwe. Beera mukakafu nti Yakuwa ajja kuwa omukisa okufuba kwo okw’okukulembeza eby’Obwakabaka.—Mat. 6:33.
3. Tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku balala?
3 Yamba Abalala Okubaawo: Pawulo era yakubiriza baganda be ‘okufaayo ku bannaabwe.’ (Beb. 10:24) Baganda bo ne bannyoko b’obeera nabo mu Lukuŋŋaana lw’Ekibiina olw’Okusoma Ekitabo beetaaga okuyambibwa okusobola okubaawo mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti? Osobola okuyamba abayizi bo aba Baibuli okubeerawo ku lukuŋŋaana luno, ne bwe kiba nti basobola kubaawo lunaku lumu lwokka? N’ab’omu maka go abatali bakkiriza bayite okubaawo mu lukuŋŋaana luno. Bw’onooyoleka okwagala mu ngeri eyo, kiyinza okukuviiramu okufuna emikisa mingi.
4. Tuyinza tutya okumanya ennaku z’omwezi n’ebifo awanaabeera olukuŋŋaana lwa disitulikiti?
4 Okumanya Ebikwata ku Lukuŋŋaana: Buli mwaka abantu bangi bakuba essimu ku ofiisi y’ettabi nga baagala okumanya ekifo n’ennaku olukuŋŋaana lwa disitulikiti we lunaabeererawo. Kumpi ab’oluganda bonna abakuba amasimu ago baba baategeezebwa dda ebikwata ku lukuŋŋaana luno.
5. Kiki kye wandikoze bw’oba weetaaga okumanya ebikwata ku by’ensula mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olutali olwo ekibiina kyo lwe kirina okugendamu?
5 Bw’oba ng’onoogenda mu lukuŋŋaana olunene olutali olwo ekibiina kyo lwe kirina okugendamu, oyinza okuwandiikira abo abakola ku by’ensula ng’okozesa endagiriro eri ku foomu eyitibwa Special Needs Room Request ekozesebwa mu kiseera kino. Foomu zino zijja kuweerezebwa abawandiisi b’ebibiina. Ebbaluwa yo okusobola okuddibwamu, kakasa nti oweererezaako ebbaasa nga kuliko sitampu n’endagiriro.
6. Ebimu ku ebyo bye tusaanidde okujjukira ebikwata ku foomu eyitibwa Special Needs Room Request, bye biruwa?
6 Abalina Obwetaavu obw’Enjawulo: Omubuulizi bw’aba ng’ayagala okuyambibwa okufuna aw’okusula, abo abali ku Kakiiko k’Obuweereza bw’Ekibiina basaanidde okusalawo obanga omubuulizi oyo atuukiriza ebisaanyizo ebyetaagisa okusobola okujjuzaamu foomu eyitibwa Special Needs Room Request. Ng’omuwandiisi w’ekibiina tannaweereza foomu eno eri ekitongole Ekikola ku by’Ensula ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, abakadde basaanidde okwekenneenya obulagirizi obuli ku foomu eno n’obwo obuli mu bbaluwa eya Ddesemba 14, 2007, eyaweerezebwa eri obukiiko bw’abakadde bwonna.
7. Tuyinza tutya okugoberera enteekateeka ezikoleddwa ezikwata ku by’ensula?
7 Okukwata Ebifo mu Wooteeri: Bw’oba nga wandyagadde Ekitongole Ekikola ku by’Ensula kikuyambe okufuna wooteeri ennungi, osabibwa okuwandiikira Ekitongole ekyo nga bukyali. Bategeeze ssente z’onoosobola okusasulira buli muntu, buli lunaku, awamu n’ennaku z’onoosulawo. Era laga obanga oneetaaga okukolerwako buli kimu mu wooteeri eyo, oba oneetaaga aw’okusula n’eky’enkya byokka, oba aw’okusula wokka.
8. (a) Tuyinza tutya okugulumiza Yakuwa nga tuli ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti? (b) Biki ebyogeddwa bamaneja ba wooteeri olw’enneeyisa ennungi eya baganda baffe?
8 Ebikolwa Ebirungi: ‘Tuganyulwa’ nnyo bwe tugondera ekiragiro kya Yakuwa ekikwata ku kukuŋŋaana awamu okumusinza. N’ekisinga obukulu, kitusobozesa okugulumiza erinnya lya Yakuwa. (Is. 48:17) ‘Ebikolwa byaffe ebirungi byeyoleka’ eri abantu bangi nga tuli ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, era abamu basobodde okwoleka enneewulira yaabwe. (1 Tim. 5:25) Mu kibuga ekimu omubadde enkuŋŋaana za disitulikiti okumala emyaka mingi, maneja omu yagamba bw’ati: “Abantu bangi mu kibuga kino boogera nnyo ku Bajulirwa ba Yakuwa era n’engeri gye baganyulwa mu nkuŋŋaana zammwe eza disitulikiti. Tukimanyi nti abantu bammwe balongoosa ekifo awabeera enkuŋŋaana n’awasimba emmotoka. Kitusanyusa nnyo okubeera awamu n’abantu bammwe mu kiseera ky’ekyeya. Tusuubira nti tujja kweyongera okukolagana nammwe ne mu biseera eby’omu maaso.” Oluvannyuma lw’okwogera ku buzibu bwe baalina n’abantu abalala abaakozesa ekifo kye, maneja omu owa wooteeri yayogera ku ngeri baganda baffe gye beeyisaamu obulungi era n’obugumiikiriza bwe baayoleka nga bali mu wooteeri eyo. Era yagamba nti, “Kyandibadde kirungi nnyo singa abantu bonna abajja wano baali beeyisa ng’Abajulirwa ba Yakuwa!” Enneeyisa ennungi eya baganda baffe eyaviirako ebigambo bino okwogerwa awamu n’ebirala bingi ebiringa ebyo, eteekwa okuba ng’esanyusa nnyo Katonda waffe, Yakuwa!
9. Matayo 4:4 lulaga lutya obukulu bw’okussaayo omwoyo ku buli kitundu ekiri mu programu eno?
9 Yesu yagamba nti tusobola okuba abalamu olw’okuwulira ‘buli kigambo ekiva mu kamwa ka yakuwa.’ (Mat. 4:4) Mu nkuŋŋaana zaffe eza disitulikiti ezibaawo buli mwaka, Yakuwa atuwa emmere ey’eby’omwoyo etuukira mu kiseera ekituufu, etegekebwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” (Mat. 24:45) Waliwo bingi ebikoleddwa okusobola okuteekateeka n’okututuusaako ekijjulo kino eky’eby’omwoyo. Ka fenna twoleke okusiima kwaffe olw’engeri ennungi Yakuwa gy’atulabiriramu nga tubaawo mu lukuŋŋaana luno era nga tussaayo omwoyo ku buli kitundu ekiri mu programu eno.
[Akasanduuko akali ku lupapula 3]
Ebiseera bya Programu
Olwokutaano n’Olwomukaaga
3:20 ez’oku makya - 10:55 ez’olweggulo
Ssande
3:20 ez’oku makya - 10:00 ez’olweggulo