‘Tambulira mu Bigere Bye’
1. Tuyinza tutya okufuuka ababuulizi abalungi?
1 Yesu teyayigirizibwa mu masomero ga balabbi, kyokka ye yali Mubuulizi asinga bonna abaali babaddewo. Ekirungi kiri nti, ebyo ebikwata ku buweereza bwa Yesu byakuumibwa tusobole okubiganyulwamu. Okusobola okuba ababuulizi abalungi, tuteekwa ‘okutambulira mu bigere bye.’—1 Peet. 2:21.
2. Kiki ekinaatuyamba okulaga abantu okwagala nga Yesu bwe yakola?
2 Abantu Balage Okwagala: Okwagala Yesu kwe yalina eri abantu kwamuleetera okubafaako. (Mak. 6:30-34) Abantu bangi mu kitundu kyaffe bali ‘mu bulumi’ era beetaaga okumanya amazima. (Bar. 8:22) Bwe tulowooza ku mbeera embi gye balimu ne ku kwagala Yakuwa kw’alina gye bali, kijja kutukubiriza okweyongera okubuulira. (2 Peet. 3:9) Ate era, abantu bajja kuwuliriza obubaka bwaffe singa bakiraba nti tubafaako.
3. Ddi Yesu lwe yabuuliranga abalala?
3 Yogera Buli lw’Oba Ofunye Akakisa: Yesu yakozesanga buli kakisa ke yafuna okubuulira abalala amawulire amalungi. (Mat. 4:23; 9:9; Yok. 4:7-10) Mu ngeri y’emu, naffe kitwetaagisa okuba abeetegefu buli lunaku okwogera n’abalala ku mazima buli lwe tuba tufunye akakisa. Abamu batambula ne Baibuli zaabwe awamu n’ebitabo basobole okubuulira nga bali ku mulimu, ku ssomero, nga balina gye balaga, nga bagenda okubaako bye bagula, ne mu mbeera endala.
4. Tuyinza tutya okufuula Obwakabaka okuba omutwe omukulu ogw’okubuulira kwaffe?
4 Ssa Essira ku Bwakabaka: Amawulire amalungi ag’Obwakabaka gwe gwali omutwe omukulu ogw’okubuulira kwa Yesu. (Luk. 4:43) Wadde nga mu kubuulira kwaffe tuyinza obutayogera butereevu ku Bwakabaka, tuba n’ekiruubirirwa eky’okuyamba abantu okutegeera nti tubwetaaga. Ne bwe tuba twogera ku mbeera embi eziri mu nsi eziraga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma, essira tuliteeka ku ‘kulangirira amawulire amalungi ag’ebintu ebirungi.’—Bar. 10:15, NW.
5. Obuweereza bwaffe okusobola okuba obulungi, tusaanidde kukozesa tutya Baibuli?
5 Weesigame ku Kigambo kya Katonda: Mu buweereza bwe bwonna, Yesu yakozesanga nnyo Ebyawandiikibwa. Tewaliiwo kye yayigiriza ekyali ekikye ku bubwe. (Yok. 7:16, 18) Yasomanga Ekigambo kya Katonda era n’akikozesa ng’alumbiddwa Setaani. (Mat. 4:1-4) Okusobola okuyigiriza abalala obulungi, tuteekwa okusoma Baibuli buli lunaku era n’okukolera ku ebyo bye tusoma. (Bar. 2:21) Bwe tuba tuddamu ebibuuzo mu buweereza bw’ennimiro, tusaanidde okunnyonnyola ekyo Baibuli ky’eyogera ku nsonga eyo oba okusoma obutereevu mu Baibuli bwe kiba kisoboka. Twagala oyo gwe tuyigiriza okukitegeera nti ebyo bye tumuyigiriza si birowoozo byaffe naye bya Katonda.
6. Kiki Yesu kye yakola okusobola okutuuka ku mitima gy’abo abaamuwulirizanga?
6 Yigiriza mu Ngeri Etuuka ku Mutima: “Tewali muntu eyali ayogedde bw’atyo.” (Yok. 7:46) Bwe batyo abambowa bwe baayogera ku Yesu nga bakabona abakulu n’Abafalisaayo bababuuzizza ensonga lwaki baali balemereddwa okumukwata. Mu kifo ky’okwogera obwogezi ku nsonga, Yesu yayigirizanga mu ngeri etuuka ku mitima gy’abantu. (Luk. 24:32) Yakozesanga ebyokulabirako eby’ebintu ebyali bimanyiddwa obulungi okusobola okuyamba abo abaali bamuwuliriza okutegeera ebyo bye yali ayigiriza. (Mat. 13:34) Yesu teyayigirizanga bintu bingi nnyo abantu bye baali batasobola kutegeera. (Yok. 16:12) Yayigirizanga mu ngeri eyaleetera abantu okuwa Yakuwa ekitiibwa so si okukiwa ye. Okufaananako Yesu, naffe tusobola okufuuka abayigiriza abalungi singa tufuba okussaayo ‘omwoyo ku ngeri gye tuyigirizaamu.’—1 Tim. 4:16.
7. Lwaki Yesu yeeyongera okubuulira?
7 Weeyongere Okubuulira Wadde ng’Abantu Tebeefiirayo oba nga Bakuziyiza: Wadde nga Yesu yakola eby’amagero eby’amaanyi, bangi tebaamuwuliriza. (Luk. 10:13) N’abeŋŋanda za Yesu bennyini baalowooza nti yali ‘alaluse.’ (Mak. 3:21) Wadde kyali kityo, Yesu yeeyongera okubuulira. Yasigala alina endowooza ennuŋŋamu kubanga yali mukakafu nti alina amazima agaali gasobola okufuula abantu ab’eddembe. (Yok. 8:32) Nga tuyambibwako Yakuwa, naffe tuli bamalirivu obutalekulira.—2 Kol. 4:1.
8, 9. Tuyinza tutya okukoppa Yesu nga twerekereza ku lw’amawulire amalungi?
8 Weerekereze Osobole Okubuulira mu Bujjuvu: Yesu yeerekereza ebintu ebirungi asobole okwenyigira ennyo mu buweereza. (Mat. 8:20) Yabuulira n’obunyiikivu, ng’oluusi azibya n’obudde. (Mak. 6:35, 36) Yesu yali akimanyi nti alina ekiseera kitono nnyo eky’okukoleramu omulimu guno. Okuva bwe kiri nti “ebiro biyimpawadde,” naffe tusaanidde okukoppa Yesu nga twerekereza ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe.—1 Kol. 7:29-31.
9 Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baali babuulizi balungi olw’okuba baakoppa Yesu. (Bik. 4:13) Naffe tusobola okutuukiriza obuweereza bwaffe singa tukoppa Omubuulizi asinga bonna abaali babaddewo.—2 Tim. 4:5.