Magazini eya Bonna Ogikozesa mu Bujjuvu?
1 Mwannyinaffe omu bwe yamala okusoma Watchtower eya Jjanwali 1, 2008, yagamba nti: “Nnina okugikozesa mu buweereza bw’ennimiro amangu ddala nga bwe kisoboka!” Weetegerezza ebimu ku bintu ebiba mu magazini eno eya bonna, era ofunye engeri ey’okubikozesaamu obulungi mu buweereza bw’ennimiro?
2 “Bye Tuyigira ku Yesu”: Oboolyawo ekitundu kino kibadde kya muganyulo nnyo gy’oli mu kutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Bw’oba tonnakikozesa mu ngeri eno, gezaako okusomera omuntu omutwe ogwo n’oluvannyuma omulage ebyo Yesu bye yayogera ku nsonga eyo mu katundu akasooka. Omuntu bw’alaga nti ayagala okumanya ebisingawo, fuba okweyongera okukubaganya naye ebirowoozo ng’okozesa emitwe emitono egiri mu ngeri y’ebibuuzo ebireetera omuntu okulowooza. Saba omuntu oyo abeeko ky’ayogera ku kibuuzo ekyo. Mu bufunze munnyonnyole ebifaananyi byonna ebikwatagana n’omutwe ogwo n’oluvannyuma mugende ku katundu akalala. Oyinza okukubaganya naye ebirowoozo ku butundu obumu obuli mu kitundu ekyo ate ku mulundi omulala gw’oba ozzeeyo okumukyalira ne mukubaganya ebirowoozo ku butundu obulala obuba busigaddeyo. Beera mwetegefu okweyongera okusoma naye ng’okozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.
3 “Engeri y’Okufunamu Essanyu mu Maka”: Ekitundu kino ekifulumira mu magazini eno buli luvannyuma lwa myezi esatu, kigendereddwamu okuyamba abaami, abakyala, n’abazadde okulaba engeri gye bayinza okussa mu nkola emisingi gya Baibuli nga bakola ku bizibu ebiyinza okutabangula emirembe gy’amaka. Era oyinza okukozesa ebitundu bino okuyamba abo abatali Bajulirwa okukimanya nti Baibuli erimu amagezi mangi ag’omuganyulo.—2 Tim. 3:16, 17.
4 Ebitundu Ebikwata ku Bavubuka: Ebitundu bino ebirina omutwe “Eri Abavubuka Baffe” bisobozesa omusomi okweyongera okutegeera ebyo ebyogerwako mu Baibuli. Osobola okukozesa ebitundu bino okuyamba abavubuka b’osanga mu buweereza bw’ennimiro okukitegeera nti kya muganyulo nnyo okusoma Ekigambo kya Katonda. (Zab. 119:9, 105) Bw’oba oyogera n’abazadde, oyinza okubalaga ekitundu ekirina omutwe “Yigiriza Abaana Bo,” ekiba mu magazini eno buli mwezi. Ebitundu bino bisobola okuyamba abaana abato okubaako ebintu ebikulu bye bayiga ku bantu aboogerwako mu Baibuli. Olina ekiruubirirwa eky’okusoma ebitundu bino n’abaana bo?
5 Ebitundu Ebirala: Buli mwezi ekitundu “Abasomi Baffe Babuuza” kibaamu ekibuuzo abo abatali Bajulirwa kye bayinza okubuuza. Oyinza okukozesa ekitundu kino ng’ogaba magazini zino nnyumba ku nnyumba. Ekitundu “Ebbaluwa Okuva . . .” eba lipoota nnungi nnyo eraga ebizibu abaminsani awamu n’abalala bye boolekagana nabyo mu kutuukiriza obuweereza bwabwe. Ebitundu bino bisobola okuyamba abo abaagala amazima okukitegeera nti amawulire amalungi gabuulirwa mu nsi yonna, era nga kino kituukiriza akabonero ak’okubeerawo kwa Kristo.—Mat. 24:3, 14.
6 Ekitundu ekifuluma buli mwezi ekirina omutwe “Semberera Katonda,” ekyesigamiziddwa ku ssuula za Baibuli ez’okusoma mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, kiyinza okuyamba abantu abeesimbu okwagala okuyiga ebisingawo ebikwata ku Yakuwa. Ekitundu “Koppa Okukkiriza Kwabwe,” ekifulumira mu magazini eno emirundi ena buli mwaka, kitegekeddwa okuyamba abantu okukuba akafaananyi ku ebyo ebiri mu Baibuli n’okukoppa abo aboogerwako mu Byawandiikibwa.
7 Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti buli mwezi tufuna magazini eno eya Omunaala gw’Omukuumi gye tusobola okukozesa mu buweereza bw’ennimiro! Ka tufubenga okumanya byonna ebiba mu magazini eyo era tugikozese okutuukiriza obuweereza bwaffe.