Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa mu 2009
1. (a) Tunaaganyulwa tutya bwe tunaabeerawo ennaku zonna esatu ez’olukuŋŋaana lwa disitulikiti? (b) Nteekateeka ki ze tusaanidde okukola kati?
1 Ffenna twesunga nnyo olukuŋŋaana lwa disitulikiti olwa 2009 era n’omukisa omulala ogw’okukuŋŋaana awamu ne basinza bannaffe “abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.” (Mat. 5:3, NW) Okuva bwe kiri nti olunaku lwa Yakuwa luli kumpi okutuuka, tukubiriza buli omu okubeerawo ennaku zonna esatu musobole okuganyulwa mu bujjuvu mu lukuŋŋaana luno olw’Ekikristaayo olujja okutuyamba okunywerera mu kukkiriza. (Zef. 1:14) Mutegeeze abasomesa n’abo ababakozesa nti okubaawo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti kitundu kikulu nnyo eky’okusinza kwammwe. Yakuwa ajja kubayamba bwe munaakola enteekateeka nga bukyali era ne mumusaba abawe omukisa.—Is. 50:10.
2. Kiki kye tuyinza okwesunga mu nkuŋŋaana za disitulikiti wadde nga tunaaba tetuyitiddwa mu lukuŋŋaana lw’ensi yonna?
2 Enkuŋŋaana ez’Ensi Yonna: Okuva bwe kiri nti enkuŋŋaana zino tezijja kuba mu nsi nnyingi ne mu bibuga bingi, abo bokka abanaayitibwa be basaanidde okuzibeeramu. Singa tugoberera enteekateeka eno, tewajja kubaawo mujjuzo. (1 Kol. 14:40; Beb. 13:17) Wadde kiri kityo, enkuŋŋaana za disitulikiti nnyingi zijja kwefaananyirizaako ez’ensi yonna, okuva bwe kiri nti abaminsani bangi, Ababeseri abaweerereza mu nsi endala, n’abaweereza ab’ensi yonna bajja kugenda mu nkuŋŋaana za disitulikiti ezinaaba mu nsi zaabwe.
3. Tusobola tutya okwoleka okwagala okw’Ekikristaayo eri abamu ku abo abali mu kibiina kyaffe?
3 Okuyamba Abalala Okubaawo: Mu kibiina kyo mulimu abeetaaga okuyambibwa okubaawo mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti? Singa obaako b’oyamba okubaawo, kijja kulaga nti ‘tofaayo ku bibyo wekka naye nti ofaayo ne ku by’abalala.’—Baf. 2:4.
4, 5. Kiki ky’oyinza okukola singa embeera z’olimu zikwetaagisa okubeera mu lukuŋŋaana olutali olwo ekibiina kyo lwe kirina okugendamu?
4 Okumanya Ebikwata ku Lukuŋŋaana: Okusobola okwewala okukuba ennyo amasimu ku ofiisi y’ettabi olw’okwagala okumanya ekifo n’ennaku olukuŋŋaana lwa disitulikiti we lunaabeererawo, musabibwa okusooka okusoma Watchtower, eya Maaki 1, 2009, Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Febwali 2009, oba okubuuza omuwandiisi w’ekibiina kyammwe ekyo kye muba mwetaaga okumanya.
5 Bw’oba ng’onoogenda mu lukuŋŋaana olunene olutali olwo ekibiina kyo lwe kirina okugendamu, oyinza okuwandiikira abo abakola ku by’ensula ng’okozesa endagiriro eri ku foomu eyitibwa Special Needs Room Request ekozesebwa mu kiseera kino. Foomu zino zijja kuweerezebwa eri abawandiisi b’ebibiina. Ebbaluwa yo okusobola okuddibwamu, kakasa nti oweererezaako ebbaasa nga kuliko sitampu n’endagiriro.
6. Nkola ki esaanidde okugobererwa singa omubuulizi alina obwetaavu obw’enjawulo ayagala okuyambibwa okufuna aw’okusula?
6 Abalina Obwetaavu obw’Enjawulo: Omubuulizi bw’aba ng’ayagala okuyambibwa okufuna aw’okusula, abo abali ku Kakiiko k’Obuweereza bw’Ekibiina basaanidde okusalawo obanga omubuulizi oyo atuukiriza ebisaanyizo ebyetaagisa okusobola okujjuzaamu foomu eyitibwa Special Needs Room Request. Basaanidde okwekenneenya obulagirizi obuli ku foomu eno n’obwo obuli mu bbaluwa eya Ddesemba 14, 2008, eyaweerezebwa eri obukiiko bw’abakadde bwonna ng’omuwandiisi w’ekibiina tannaweereza foomu eyo eri Ekitongole Ekikola ku by’Ensula.
7. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okukwata ebifo mu wooteeri?
7 Okukwata Ebifo mu Wooteeri: Bw’oba nga wandyagadde Ekitongole Ekikola ku by’Ensula kikuyambe okufuna wooteeri ennungi, osabibwa okuwandiikira ekitongole ekyo nga bukyali. Bategeeze ssente z’onoosobola okusasulira buli muntu, buli lunaku, awamu n’ennaku z’onoosulawo. Era laga obanga oneetaaga okukolerwako buli kimu mu wooteeri eyo, oba oneetaaga aw’okusula n’eky’enkya byokka, oba aw’okusula wokka.
8. Tuyinza tutya okulaga nti tukolagana bulungi n’Ekitongole Ekikola ku by’Ensula?
8 Osabibwa obutakwata bisenge mu wooteeri by’otajja kukozesa oba obutasazaamu nteekateeka yo ey’okusula mu wooteeri eno, mu kiseera ekivannyuma ng’oyagala okozese wooteeri endala. Bw’onoogoberera enteekateeka eno, kijja kusobozesa buli omu okufuna ekisenge mu wooteeri ku miwendo emisaamusaamu.—1 Kol. 10:24.
9. Kiki kye tusaanidde okulowoozaako ennyo nga twetegekera okubaawo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwa 2009?
9 Ebikolwa Ebiweesa Katonda Ekitiibwa: Bwe twoleka ebibala by’omwoyo mu byonna bye tukola, nga twegendereza nnyo bye twogera n’engeri gye tweyisaamu nga tukolagana n’abo abakola mu wooteeri awamu n’abalala mu kibuga awanaabeera olukuŋŋaana olunene, tujja kwongera okulungiya erinnya ly’abantu ba Yakuwa era n’okwewala okwesittaza abalala. (1 Kol. 10:31; 2 Kol. 6:3, 4) Ka okubeerawo kwo mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwa 2009 era n’engeri gye weeyisaamu byongere okuweesa Katonda ekitiibwa!—1 Peet. 2:12.
[Akasanduuko akali ku lupapula 5]
Ebiseera bya Programu:
Olwokuna (Olukuŋŋaana olw’Ensi Yonna Lwokka)
7:20 ez’olweggulo - 10:55 ez’olweggulo
Olwokutaano n’Olwomukaaga
3:20 ez’oku makya -10:55 ez’olweggulo
Ssande
3:20 ez’oku makya - 10:00 ez’olweggulo