Okuwa Obujulirwa nga Tukozesa Essimu kya Muganyulo
1. Lwaki okuwa obujulirwa nga tukozesa essimu twandikitutte ng’ekintu ekikulu mu buweereza bwaffe?
1 Lwaki twandirowoozezza ku ky’okuwa obujulirwa nga tukozesa essimu mu buweereza bwaffe? Kubanga nayo ngeri ndala ey’okuyamba abantu okufuna okumanya okutuufu okujja okubasobozesa okufuna obulokozi. (2 Peet. 3:9) Wadde ng’engeri esinga obukulu ey’okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ye y’okubuulira nnyumba ku nnyumba, tukozesa n’engeri endala okutuusa obubaka bwaffe ku abo abatatera kusangibwa waka.—Mat. 24:14; Luk. 10:1-7; Kub. 14:6.
2. Okubuulira nga tukozesa essimu kuyinza kutegekebwa kutya?
2 Engeri gye Kutegekebwamu: Ng’enteekateeka z’okubuulira nnyumba ku nnyumba bwe ziba, era ababuulizi baweebwa ekitundu eky’okubuuliramu nga bakozesa essimu. Kino omubuulizi ayinza okukikola ng’ali yekka oba ng’ali wamu n’ababuulizi abalala babiri oba basatu. Kino basaanidde okukikolera mu kifo ekisirifu era nga tewali bibataataaganya. Bangi bakisanze nga kya muganyulo okuba n’ebitabo ku mmeeza bye bakozesa nga babuulira nnyumba ku nnyumba.
3. Kiki kye tusaanidde okulowoozaako nga tubuulira ku ssimu?
3 Engeri y’Okubuulira nga Tukozesa Essimu: Bwe tuba tubuulira nga tukozesa essimu, tusaanidde okwogera ng’abanyumya. Abamu ku abo abaakatandika okubuulira nga bakozesa essimu bayinza okusomera omuntu ennyanjula naye nga balinga abanyumya. Bayinza okukozesa ennyanjula eziri mu katabo Reasoning, Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka, ne mu tulakiti Wandyagadde Okumanya Amazima? Bw’oba oteekateeka okukozesa ennyanjula eyiyo ku bubwo, manya ensonga gy’oyagala okwogerako, ekibuuzo ky’oyinza okubuuza, era beera mwetegefu okukozesa ebyawandiikibwa ebiddamu ekibuuzo ekyo. Oyinza okwanjulira omuntu oyo ekimu ku bitabo bye tugaba nga tubuulira nnyumba ku nnyumba. Lowooza ku magezi gano wammanga: Beera mukkakkamu era yogera mpolampola. Beera wa ggonjebwa, mugumiikiriza, era yogera mu ngeri ey’omukwano, okuva bwe kiri nti kino omuntu asobola okukitegeerera ku ssimu. Wuliriza bulungi ng’omuntu ayogera era mwebaze mu bwesimbu olw’okuwa endowooza ye. Weewale okwogera ku nteekateeka ey’okuwaayo kyeyagalire, okuva bwe kiri nti kiyinza okuleetera omuntu okulowooza nti tukozesa essimu okusabiriza ssente.
4. Okuwa obujulirwa nga tukozesa essimu kiyinza kitya okutuyamba okubuulira abantu abali mu kitundu kyaffe?
4 Omuntu gw’oyogera naye ku ssimu ayinza okuba nga mulwadde oba oyo alina eby’okukola ebingi nga kizibu okumusanga awaka nga tubuulira nnyumba ku nnyumba. Waliwo abalala ababeera mu bifo ebiriko enkomera oba mu bizimbe abantu gye batakkirizibwa kuyingira nga tebasabye lukusa. N’olwekyo, nga tufuba okutuukiriza obuweereza bwaffe mu bujjuvu, tusaanidde okulowooza ku ngeri eno ennungi ey’okuwa obujulirwa nga tukozesa essimu.