Eriiso Lyo Liraba Wamu?
1. Kitegeeza ki okuba ‘n’eriiso eriraba awamu’?
1 Ekyo amaaso gaffe kye galaba kirina kye kikola ku nneeyisa yaffe. Ng’ebigambo bya Yesu bino bituukirawo bulungi nnyo, ebigamba nti, “Eriiso lyo bwe liba nga liraba wamu, omubiri gwo gwonna gujja kuba mutangaavu”! (Mat. 6:22) Eriiso lyaffe bwe liba nga “liraba wamu” mu by’omwoyo, liba ku kigendererwa kimu—okukola Katonda by’ayagala. Tuteeka Obwakabaka mu kifo ekisooka era tetuwugulibwa bya bugagga oba okukola ebintu ebitaataaganya obuweereza bwaffe.
2. Kiki ekiyinza okukyusa endowooza yaffe, era ekinaatuyamba kye kiruwa?
2 Twetaaga Okwekebera: Endowooza gye tulina ku bintu bye twetaaga okuba nabyo mu bulamu eyinza okukyuka olw’ebyo bye tuwulira ku radiyo ne bye tulaba mu bulango obubeera ku ttivi oba olw’ebyo abalala bye balina. Nga tetunnatandika kukola kintu kyonna oba okubaako ne kye tugula ekijja okututwalako ebiseera ebingi, ssente nnyingi, oba amaanyi amangi, kyandibadde kirungi “okubalirira ebyetaagisa” nga twebuuza nti, ‘Kino kinannyamba okwongera amaanyi mu buweereza bwange oba okuddirira?’ (Luk. 14:28; Baf. 1:9-11) Era buli luvannyuma lwa kiseera kiba kya magezi okulowooza ku ebyo bye tuyinza okwerekereza okwongera okukola ekisingawo mu buweereza.—2 Kol. 13:5; Bef. 5:10.
3. Kiki kye tuyigira ku mwannyinaffe omu eyakola enkyukakyuka asobole okweyongera okuweereza?
3 Mwannyinaffe omu bwe yatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo, yasalawo okusigaza omulimu gwe ogw’ekiseera kyonna wadde nga omulimu ogutali gwa kiseera kyonna gwandimusobozesezza okufuna ssente ezimumala okukola ku byetaago bye. Oluvannyuma yakomekkereza agamba nti: “Tewali n’omu ayinza kubeera muddu wa baami babiri. Nnalina okwefiiriza bye njagala nsobole okukola ku byetaago byange. Nnakitegeera nti eby’obugagga biggwaawo era nandibadde nneekooyeza bwereere nga ngezaako okubinoonya.” Embeera ze zaamusobozesa okukola enkyukakyuka ng’abaako bye yeerekereza, era n’akyusa omulimu, asobole okweyongera okuweereza nga payoniya.
4. Lwaki kikulu nnyo kati okusigala n’eriiso eriraba awamu?
4 Olw’okuba ekiseera kisigaddeyo kitono, kikulu nnyo okusigala n’eriiso eriraba awamu. Buli lunaku oluyitawo luba lutusembeza kumpi n’enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno era ne ku ntandikwa y’ensi ya Katonda empya. (1 Kol. 7:29, 31) Bwe tunyiikirira omulimu gw’okubuulira, tusobola okwerokola era n’okulokola abo abatuwuliriza.—1 Tim. 4:16.