LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 8/13 lup. 1
  • Ekigambo kya Katonda Kigasa mu Kuyigiriza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ekigambo kya Katonda Kigasa mu Kuyigiriza
  • Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Similar Material
  • Fuba Okukuuma Ebirowoozo Byo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • ‘Katonda by’Ayagala Bikolebwe’
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Ekigambo kya Katonda Kya Maanyi
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • ‘Emmere mu Kiseera Ekituufu’
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
See More
Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
km 8/13 lup. 1

Ekigambo kya Katonda Kigasa mu Kuyigiriza

1. Olukuŋŋaana lw’ekitundu olw’omwaka 2014 lujja kuba na mutwe ki, era kibuuzo ki ekijja okuddibwamu mu lukuŋŋaana olwo?

1 Yakuwa ye muyigiriza waffe asingiridde. (Is. 30:20, 21) Yakuwa atuyigiriza atya? Akozesa ekitabo ekisinga ebitabo byonna, nga kye Kigambo kye Bayibuli, ekyaluŋŋamizibwa. Ebyo Katonda by’atuyigiriza bituganyula bitya mu nneewulira, mu by’omubiri, ne mu by’omwoyo? Eky’okuddamu tujja kukifuna mu lukuŋŋaana lwaffe olw’ekitundu olw’omwaka gw’obuweereza ogwa 2014. Olukuŋŋaana olwo lujja kuba n’omutwe ogugamba nti, “Ekigambo kya Katonda Kigasa mu Kuyigiriza,” ogwesigamiziddwa ku 2 Timoseewo 3:16.

2. Bibuuzo ki ebinaddibwamu okutuyamba okujjukira ensonga enkulu?

2 Ensonga Enkulu: Eby’okuddamu mu bibuuzo bino wammanga bye bijja okutuyamba okujjukira ensonga enkulu:

• Ebyo Katonda by’atuyigiriza bituganyula bitya? (Is. 48:17, 18)

• Bwe tuba twagala okukola enkyukakyuka tusobole okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, tuyinza kuba bakakafu ku ki? (Mal. 3:10)

• Kiki kye tusaanidde okukola bwe kituuka ku ‘njigiriza ezitali za bulijjo’? (Beb. 13:9)

• Tuyinza tutya okukoppa ‘engeri Yesu gye yayigirizangamu’? (Mat. 7:28, 29)

• Lwaki abo abayigiriza mu kibiina nabo basaanidde okweyigiriza? (Bar. 2:21)

• Ekigambo kya Katonda kigasa mu ngeri ki? (2 Tim. 3:16)

• Abantu bakwatibwako batya ng’amawanga ‘gakankanyizibwa’? (Kag. 2:6, 7)

• Yakuwa atulinamu bwesige ki? (Bef. 5:1)

• Lwaki tusaanidde okufuba ennyo okusobola okusigala nga tukolera ku ebyo Yakuwa by’atuyigiriza? (Luk. 13:24)

3. Lwaki kikulu nnyo okubaawo ku lukuŋŋaana olwo n’okussaayo omwoyo?

3 Emabegako mu 2 Timoseewo essuula 3, nga Pawulo tannawandiika ebigambo ebyesigamiziddwako omutwe gw’olukuŋŋaana luno, yalaga ebintu ebyandibaddewo mu nnaku ez’oluvannyuma. Yawandiika nti: “Abantu ababi n’abalimba bajja kweyongerera ddala okuba ababi, nga babuzaabuza abalala era nga nabo babuzaabuzibwa.” (2 Tim. 3:13) Kikulu nnyo okuwuliriza obulungi n’okukolera ku ebyo bye tunaaba tuyize tuleme kubuzaabuzibwa. N’olwekyo, ka tweteeketeeke nga bukyali tusobole okubaawo ku lukuŋŋaana olwo olutuukidde mu kiseera ekituufu, era tusseeyo omwoyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share