Yakuwa Antwala Atya?
1. Lwaki Bayibuli egeraageranyizibwa ku ndabirwamu?
1 Otera okweraba mu ndabirwamu? Abasinga obungi ku ffe ekyo tukikola buli lunaku tusobole okulaba we twetaaga okutereeza. Bayibuli egeraageranyizibwa ku ndabirwamu. Bwe tusoma Bayibuli tusobola okumanya ekyo kye tuli munda, era ng’ekyo ne Yakuwa ky’atunuulira. (1 Sam. 16:7; Yak. 1:22-24) Ekigambo kya Katonda kisobola “okutegeera ebirowoozo n’ebiruubirirwa by’omutima.” (Beb. 4:12) Okusoma Bayibuli buli lunaku n’okugifumiitirizaako kiyinza kitya okutuyamba okulaba we twetaaga okutereeza okusobola okuba ababuulizi abalungi?—Zab. 1:1-3.
2. Bayibuli eyinza etya okutuyamba okwekebera?
2 Bayibuli Gikozese ng’Endabirwamu: Ebyo ebiri mu Bayibuli ebikwata ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa bituyamba okumanya engeri gy’ayagala tumuweerezeemu. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Dawudi yali ayagala nnyo okugulumiza erinnya lya Yakuwa. (1 Sam. 17:45, 46) Isaaya yeewaayo okugenda okubuulira mu kitundu ekitaali kyangu kubuuliramu. (Is. 6:8, 9) Olw’okuba Yesu yali ayagala nnyo Kitaawe, okubuulira yali akutwala ng’omulimu oguleeta essanyu so si ng’omugugu. (Yok. 4:34) Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baabuuliranga n’obunyiikivu awatali kulekulira, era beesiganga Yakuwa. (Bik. 5:41, 42; 2 Kol. 4:1; 2 Tim. 4:17) Bwe tufumiitiriza ku byokulabirako ng’ebyo kituyamba okwekebera ne tusobola okulongoosa mu ngeri gye tuweerezaamu Yakuwa.
3. Lwaki tetusaanidde kulwa kukola nkyukakyuka ezeetaagisa?
3 Kola Enkyukakyuka Ezeetaagisa: Tekigasa kutunula mu ndabirwamu ne tulaba aw’okutereeza kyokka ne tutatereezaawo. Tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okwekebera mu ngeri entuufu n’okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. (Zab. 139:23, 24; Luk. 11:13) Olw’okuba ekiseera ekisigaddeyo kitono ate ng’abantu beetaaga okulabulwa basobole okuwonawo, tetusaanidde kulwa kukola nkyukakyuka ezeetaagisa.—1 Kol. 7:29; 1 Tim. 4:16.
4. Omuntu asoma Ekigambo kya Katonda era n’akikolerako, aganyulwa atya?
4 Yakuwa asinga kufaayo ku ekyo kye tuli munda so si ku ndabika yaffe ey’okungulu. (1 Peet. 3:3, 4) Omuntu asoma Ekigambo kya Katonda era n’akolera ku ebyo by’asomye, aganyulwa atya? Omuntu oyo ‘olw’okuba taba muwulizi eyeerabira wabula agondera ekigambo, aba musanyufu olw’okukola bw’atyo.’ (Yak. 1:25) Bwe ‘tunaayoleka ekitiibwa kya Yakuwa’ nga tumuweereza, tujja kuba basanyufu.—2 Kol. 3:18.