Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Buulira Obwakabaka n’Obuvumu
Lwaki Kikulu: Okusobola okukolera ku kubuulirira okuli mu 2 Timoseewo 1:7, 8, tulina okubuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda n’obuvumu. Biki ebinaatuyamba okubuulira n’obuvumu?
Mu Mwezi Guno Gezaako Kino:
Lowooza ku muntu gwe wandyagadde okubuulira. Saba Yakuwa akuwe obuvumu, era akusobozese n’okufuna akakisa ak’okubuulira omuntu oyo.