OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana Olunene
Ku lukuŋŋaana olunene, twagala okweyisa mu ngeri eraga nti twagala Katonda ne baliraanwa baffe nga bwe tukola mu biseera ebirala. (Mat 22:37-39) 1 Abakkolinso 13:4-8 wannyonnyola nti: “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. . . . Tekweyisa mu ngeri etesaana, tekwenoonyeza byakwo, tekunyiiga. . . . Okwagala tekulemererwa.” Ng’olaba vidiyo Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana Olunene, lowooza ku ngeri gy’oyinza okulagamu abalala okwagala ng’oli ku lukuŋŋaana olunene.
TUYINZA TUTYA OKWOLEKA OKWAGALA . . .
nga tukwata ebifo eby’okutuulamu?
ng’obuyimba bunaatera okutandika?
nga tuli gye tusula mu kitundu awali olukuŋŋaana?
nga tusabiddwa okukola nga bannakyewa?