EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZABBULI 38-44
Yakuwa Alabirira Abalwadde
Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa basobola okuba abakakafu nti asobola okubayamba mu mbeera yonna enzibu
Dawudi yalwala nnyo
Dawudi yali afaayo ku banaku
Dawudi yali tasuubira kuwonyezebwa mu ngeri ya kyamagero, naye yali mukakafu nti Yakuwa ajja kumubudaabuda, okumuwa amagezi, n’okumuyamba
Yakuwa yali atwala Dawudi ng’omusajja omwesigwa