EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZABBULI 79-86
Ani Asinga Okuba ow’Omuwendo mu Bulamu Bwo?
Omuwandiisi wa Zabbuli 83 kirabika yali muzzukulu wa Asafu Omuleevi eyaliwo mu kiseera kye kimu ne Kabaka Dawudi. Zabbuli eno yawandiikibwa mu kiseera ng’abantu ba Yakuwa batiisibwatiisibwa abalabe baabwe.
Mu ssaala eno, omuwandiisi wa zabbuli essira yalissa ku linnya lya Yakuwa ne ku bufuzi bwe, mu kifo ky’okulissa ku bukuumi bwe yali yeetaaga
Ne leero, abaweereza ba Katonda balumbibwa abalabe baabwe. Obugumiikiriza bwaffe buweesa Yakuwa ekitiibwa
Yakuwa ayagala tumanye erinnya lye
Tusaanidde okukiraga mu bikolwa byaffe nti Yakuwa y’asinga okuba ow’omuwendo mu bulamu bwaffe