EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ISAAYA 17-23
Omuntu bw’Akozesa Obubi Obuyinza Kimuviiramu Okubufiirwa
Sebuna yali muwanika ‘eyalabiriranga ennyumba,’ ng’eno kirabika yali nnyumba ya Kabaka Keezeekiya. Ye yali addirira kabaka mu buyinza era yalina obuvunaanyizibwa bwa maanyi.
Sebuna yalina kukola ku nsonga ezikwata ku bantu ba Yakuwa
Mu kifo ky’ekyo, yasalawo kwenoonyeza bitiibwa
Yakuwa yaggya Sebuna mu kifo kye yalimu n’assaawo Eriyakimu
Eriyakimu yaweebwa “ekisumuluzo ky’ennyumba ya Dawudi,” ng’ekyo kikiikirira obuyinza
Eky’okulowoozaako: Sebuna yandikozesezza atya obuyinza bwe yalina?