OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okkiriza nti Yakuwa Yakusonyiwa?
Oluusi omutima gusigala gukyatulumiriza olw’ekintu kye twakola emabega wadde nga Yakuwa yatusonyiwa. Ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu olwa 2016, olwalina omutwe ogugamba nti “Sigala ng’Oli Mwesigwa eri Yakuwa!” twawuliriza okwogera era ne tulaba ne vidiyo ekwata ku nsonga eyo. Kozesa JW Library oddemu okulaba vidiyo eyo, oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino:
Sonja yamala emyaka emeka ng’agobeddwa mu kibiina?
Kyawandiikibwa ki abakadde kye baamusomera, era kyamuyamba kitya?
Ab’oluganda baayisa batya Sonja ng’akomezeddwawo mu kibiina?
Sonja yali awulira atya, era taata we yamuyamba atya?