LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb17 Agusito lup. 8
  • Nziremu Ddi Okuweereza nga Payoniya Omuwagizi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Nziremu Ddi Okuweereza nga Payoniya Omuwagizi?
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Similar Material
  • Ekiruubirirwa Ekirungi mu Mwaka gw’Obuweereza Omupya
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Enteekateeka Eneetusobozesa Okweyongera Okutendereza Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Mulangirire Wonna Obulungi bwa Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Kola Kati Enteekateeka ez’Okugaziya ku Buweereza Bwo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
mwb17 Agusito lup. 8

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Nziremu Ddi Okuweerezaako nga Payoniya Omuwagizi?

Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku yeekaalu kulaga nti abantu ba Yakuwa bandiwaddeyo ebiweebwayo kyeyagalire. Buli omu ku ffe ayinza atya okuwaayo ssaddaaka ez’okutendereza?​—Beb 13:15, 16.

Engeri emu kwe kuweereza nga payoniya omuwagizi. Omwaka gw’obuweereza ogwa 2018 gulimu emyezi egiwerako egirina ennaku ttaano ez’Olw’omukaaga oba Ssande. Ekyo kiyinza okuyambako ababuulizi ababuulira ku wiikendi kwokka okuweereza nga bapayoniya abawagizi. Ate era, ababuulizi abaagala okuweereza nga bapayoniya abawagizi bayinza okubuulira essaawa 30 oba 50 mu mwezi gwa Maaki ne Apuli, oba mu mwezi omulabirizi w’ekitundu gw’anaakyalira ekibiina kyabwe.

Ate singa embeera yaffe teetusobozese kuweereza nga bapayoniya abawagizi? Tuyinza okufuba okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu ne gye tuyigirizaamu, oba okwongera ku biseera bye tumala mu buweereza. Embeera yaffe k’ebe etya, okwagala kwe tulina eri Yakuwa ka kutuleetere okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2018.​—Kos 14:2.

Sabina Hernández akozesa omumwa okuwandiika ku foomu ey’okuweereza nga payoniya omuwagizi

Nnyinza ntya okukoppa Sabina Hernández?

MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, YAKUWA ANSOBOZESA OKUKOLA KUMPI BULI KIMU, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Kiki ekikubiriza mwannyinaffe Sabina okukola ekisingawo mu buweereza?

  • Ekyokulabirako kya Sabina kikukutteko kitya?

  • Mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2018, myezi ki gy’osobola okuweereza nga payoniya omuwagizi?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share