LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb18 Maayi lup. 8
  • “Katonda ky’Agasse Awamu . . . ”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Katonda ky’Agasse Awamu . . . ”
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Similar Material
  • Ssa Ekitiibwa mu Ekyo “Katonda ky’Agasse Awamu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
mwb18 Maayi lup. 8
Omwami n’omukyala beekutte ku mukono

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

“Katonda ky’Agasse Awamu . . .”

Amateeka ga Musa gaali galagira omusajja eyabanga ayagala okugoba mukazi we, okumuwandiikira ebbaluwa eraga nti amugobye. Ekyo ky’aleeteranga abasajja obutamala ga goba bakazi baabwe. Kyokka Yesu we yabeerera ku nsi, abakulembeze b’eddiini baali bakifudde kyangu nnyo omusajja okugoba mukazi we. Abasajja baagobanga bakazi baabwe nga basinziira ku nsonga yonna. (“ebbaluwa eraga nti amugobye” awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 10:4, nwtsty-E; “agoba mukazi we,” “aba ayenze era aba ayisizza bubi mukazi we” awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 10:11, nwtsty-E) Yesu yalaga nti Yakuwa ye yatandikawo enteekateeka y’obufumbo. (Mak 10:2-12) Omusajja n’omukazi bandifuuse omubiri gumu era obufumbo bwabwe bwandibadde bwa lubeerera. Ebyawandiikibwa biraga nti ‘obwenzi’ ye nsonga yokka eyandireetedde abafumbo okugattululwa.​—Mat 19:9.

Abantu bangi leero obufumbo babutwala ng’Abafalisaayo bwe baabutwalanga. Bangi bwe bafuna ebizibu mu bufumbo bwabwe, banguwa okugattululwa. Kyokka Abakristaayo bo obufumbo babutwala nga bukulu nnyo, era bwe bafuna ebizibu mu bufumbo bwabwe, bafuba okubigonjoola nga bakolera ku misingi gya Bayibuli. Mulabe vidiyo erina omutwe, Okwagalana n’Okuwaŋŋana Ekitiibwa Biyamba ab’Omu Maka Okuba Obumu, era oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino:

  • Asoma Bayibuli; omwami awuliriza mukyala we ky’amugamba; ekifaananyi ky’embaga ekiyuziddwamu

    Abafumbo bayinza batya okukolera ku magezi agali mu Engero 15:1, era lwaki kikulu okugakolerako?

  • Okukolera ku magezi agali mu Engero 19:11, kiyinza kitya okubayamba okwewala ebizibu?

  • Ebizibu bwe biba nga biyitiridde mu bufumbo bwammwe, mu kifo ky’okulowooza ku kugattululwa, bibuuzo ki bye musaanidde okwebuuza?

  • Oyinza otya okuba omwami omulungi oba omukyala omulungi, ng’okoledde ku magezi agali mu Matayo 7:12?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share