LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb18 Jjuuni lup. 2
  • Tambulira mu Bigere bya Kristo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tambulira mu Bigere bya Kristo
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Similar Material
  • Musanyuke nga Muyigganyizibwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Tusobola Okuganyulwa bwe Tugumira Okubonaabona
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Osobola Okugumira Okuyigganyizibwa
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Yakuwa Atuyamba Atya Okugumiikiriza?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
mwb18 Jjuuni lup. 2

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Tambulira mu Bigere bya Kristo

Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi kye tuyinza okukoppa, nnaddala nga tuyigganyizibwa. (1Pe 2:21-23) Wadde nga yavumibwa, teyeesasuza; ne bwe yali ng’abonyaabonyezebwa. (Mak 15:29-32) Kiki ekyamuyamba okugumiikiriza? Yali amaliridde okukola Yakuwa by’ayagala. (Yok 6:38) Ate era, ebirowoozo bye yabimalira ku ‘ssanyu eryateekebwa mu maaso ge.’​—Beb 12:2.

Twandyeyisizza tutya nga tuyigganyizibwa olw’okuweereza Yakuwa? Abakristaayo ab’amazima beewala okwesasuza. (Bar 12:14, 17) Bwe tugumiikiriza nga tubonaabona nga Kristo bwe yakola, tujja kuba basanyufu kubanga tuba tukimanyi nti tusanyusa Yakuwa.​—Mat 5:10-12; 1Pe 4:12-14.

MULABE VIDIYO, ERINNYA LYA YAKUWA LYE LISINGA OBUKULU, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Mwannyinaffe Pötzingera yakozesa atya obulungi ebiseera bye, bwe yali asibiddwa mu kkomera?

  • Mbeera ki Ow’oluganda ne Mwannyinaffe Pötzinger gye baayitamu nga bali mu nkambi y’abasibe?

  • Kiki ekyabayamba okugumira embeera eyo?

Abakazi nga bakola emirimu egy’amaanyi mu kiseera ky’Abanazi; Ow’oluganda ne Mwannyinaffe Pötzinger

Bw’oba oyigganyizibwa, koppa ekyokulabirako kya Kristo

a Erinnya lino era liwandiikibwa nti Poetzinger.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share