OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okwagala Kwe Kwawulawo Abakristaayo ab’Amazima—Sanyukira Wamu n’Amazima
LWAKI KIKULU: Tusaanidde okukoppa Yesu nga tuwa obujulirwa ku bigendererwa bya Katonda. (Yok 18:37) Ate era tusaanidde okusanyukira wamu n’amazima, okwogera amazima, n’okulowoozanga ku bintu byonna ebituufu, wadde nga tuli mu nsi ejjudde obulimba n’obutali butuukirivu.—1Ko 13:6; Baf 4:8.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Beera mumalirivu obutawuliriza ŋŋambo oba obutazisaasaanya.—1Se 4:11
Tosanyuka ng’omulala afunye ebizibu
Sanyukira ebirungi n’ebizzaamu amaanyi
MULABE VIDIYO “MWAGALANENGA”—TOSANYUKIRA BITALI BYA BUTUUKIRIVU, WABULA SANYUKIRA WAMU N’AMAZIMA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Mu ngeri ki Debbie gye ‘yasanyukira ebitali bya butuukirivu’?
Alice yakyusa atya emboozi ne batandika okunyumya ku kintu ekirungi?
Ebimu ku bintu ebirungi bye tusobola okunyumyako bye biruwa?
Tosanyukira bitali bya butuukirivu, wabula sanyukira wamu n’amazima