EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 4-5
Beeyongera Okwogera Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu
Kiki ekyasobozesa abatume okuba abayigiriza? Kiki ekyabayamba okwogera n’obuvumu? “Baabeeranga ne Yesu” Omuyigiriza Omukulu, era baamuyigirako ebintu bingi. (Bik 4:13) Biki bye tuyinza okuyigira ku Yesu ebinaatuyamba okuba abayigiriza abalungi?