EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 ABAKKOLINSO 7-9
Okubeera Obwannamunigina—Kirabo
Okumala emyaka mingi, Abakristaayo bangi bakirabye nti okubeera obwannamunigina kirimu emiganyulo mingi. Kisobozesa omuntu okugaziya ku buweereza bwe, okufuna emikwano mingi, n’okweyongera okusemberera Yakuwa.
Babuulira mu Australia, mu 1937; mwannyinaffe okuva mu Gireyaadi atuuse mu Mexico gy’agenda okuweerereza, mu 1947
Abuulira mu Brazil; bali mu ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka mu Malawi
EKY’OKUFUMIITIRIZAAKO: Bw’oba nga toli mufumbo, oyinza otya okukozesa obulungi embeera gy’olimu?
Abalala mu kibiina bayinza batya okuyamba abo abali obwannamunigina n’okubazzaamu amaanyi?