LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb19 Agusito lup. 3
  • Abaagala Yakuwa b’Oba Ofuula Mikwano Gyo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abaagala Yakuwa b’Oba Ofuula Mikwano Gyo
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Similar Material
  • Lwaki Tusaanidde Okutya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Yakuwa Awa Omukisa Abo Abooleka Obuvumu
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Yekoyaada Yayoleka Obuvumu
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Abato—Bulamu bwa Ngeri Ki Bwe Mwagala?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
mwb19 Agusito lup. 3

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Abaagala Yakuwa b’Oba Ofuula Mikwano Gyo

Lwaki abo abaagala Yakuwa be tusaanidde okufuula mikwano gyaffe? Kubanga abantu be tumala nabo obudde obungi basobola okutuyamba okukola ebintu ebirungi oba bayinza okutuleetera okukola ebintu ebibi. (Nge 13:20) Ng’ekyokulabirako, Kabaka Yekowaasi yakola “ebirungi mu maaso ga Yakuwa” ekiseera kyonna Yekoyaada Kabona Asinga Obukulu kye yamala nga mulamu. (2By 24:2) Yekoyaada bwe yafa, Yekowaasi yava ku Yakuwa olw’okuba yali afunye emikwano emibi.​—2By 24:17-19.

Mu kyasa ekyasooka E.E., omutume Pawulo yageraageranya ekibiina Ekikristaayo ku “nnyumba ennene” ate abo abakirimu n’abageraageranya ku ‘bibya,’ oba ku bintu ebibeera mu nnyumba. Tusobola okubeera ‘ebintu ebikozesebwa mu mirimu egy’ekitiibwa’ bwe twewala okukolagana n’omuntu yenna akola ebintu ebitasanyusa Yakuwa, k’abe wa luganda mu kibiina oba omu ku b’eŋŋanda zaffe. (2Ti 2:20, 21) N’olwekyo, ka ffenna tweyongere okufuula abo abaagala Yakuwa mikwano gyaffe era abatukubiriza okweyongera okumuweereza.

MULABE VIDIYO, YIGA OKWEWALA EMIKWANO EMIBI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Tuyinza tutya okwesanga nga tukolagana n’abantu ababi?

  • Mu vidiyo gye tulabye, kiki ekyayamba Abakristaayo abo abasatu okwekutula ku mikwano emibi?

  • Misingi ki egya Bayibuli egisobola okukuyamba okukozesa amagezi ng’olonda emikwano?

John afukira bakasitoma be omwenge; Kristin atunuulidde essimu ye; Jayden azannya omuzannyo gw’oku Intaneeti; John ng’ali n’ab’omu maka ge, Kristin, ne Jayden nga bali mu nkuŋŋaana

Ndi “kintu ekikozesebwa mu mirimu egy’ekitiibwa”?​—2Ti 2:21

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share