OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Beera Mukozi Mukugu
Omubazzi omukugu amanyi engeri y’okukozesaamu ebyuma bye. Mu ngeri y’emu, “omukozi ataliiko kimukwasa nsonyi” aba amanyi engeri y’okukozesaamu ebintu bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. (2Ti 2:15) Ddamu ebibuuzo bino wammanga olabe obanga omanyi bulungi engeri y’okukozesaamu ebimu ku bintu bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli.
WULIRIZA KATONDA OBE MULAMU EMIREMBE GYONNA
Brocuwa eyo yategekerwa baani?—mwb17.03 lup. 5 ¶1-2
Oyinza kugikozesa otya ng’oyigiriza omuntu Bayibuli?—km 7/12 lup. 3 ¶6
Katabo ki k’olina okukozesa okuyamba omuyizi okukulaakulana okutuuka ku kubatizibwa?—km 7/12 lup. 3 ¶7
AMAWULIRE AMALUNGI OKUVA ERI KATONDA!
Brocuwa eno eyawukana etya ku butabo obulala bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli?—km 3/13 lup. 4-5 ¶3-5
Kiki ky’osaanidde okugezaako okukola ng’ogiwadde omuntu?—km 9/15 lup. 3 ¶1
Oyinza kugikozesa otya okuyigiriza omuntu Bayibuli?—mwb16.01 lup. 8
Ddi lw’osaanidde okutwala omuyizi mu katabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?—km 3/13 lup. 7 ¶10
BIKI BYE TUYIGA MU BAYIBULI?
Ekitundu, Bye Tuyize ne Ebyongerezeddwako tusaanidde kubikozesa tutya?—mwb16.11 lup. 5 ¶2-3
BAANI LEERO ABAKOLA YAKUWA BY’AYAGALA?
Ddi lwe tusaanidde okukozesa brocuwa eno?—mwb17.03 lup. 8 ¶1
Tuyinza kugikozesa tutya?—mwb17.03 lup. 8, akasanduuko