OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Oganyulwa mu Katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku?
Enteekateeka yo ey’eby’omwoyo ezingiramu okusoma Ekyawandiikibwa ekya buli lunaku n’ebikyogerako okuva mu katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku? Bwe kiba nti si bwe kiri, osobola okukiteeka mu nteekateeka yo? Bangi bakisoma ku makya kibasobozese okufumiitiriza ku kyawandiikibwa ekyo olunaku lwonna nga bwe bakola emirimu gyabwe. (Yos 1:8; Zb 119:97) Oyinza otya okuganyulwa mu ngeri esingako mu Kyawandiikibwa eky’olunaku? Soma ennyiriri eziriraanye Ekyawandiikibwa ekyo osobole okumanya ebirala ebikwata ku lunyiriri olwo. Gezaako okulowooza ku mbeera emu eyogerwako mu Bayibuli eraga omusingi oguli mu kyawandiikibwa ekyo. Oluvannyuma, kolera ku musingi ogwo mu bulamu bwo. Bw’okolera ku magezi agali mu Kigambo kya Katonda ng’olina by’osalawo, ojja kuganyulwa nnyo.—Zb 119:105.
Baganda baffe ne bannyinaffe abaweereza ku Beseri mu nsi yonna basoma Ekyawandiikibwa eky’olunaku ku makya. Ku JW Broadcasting® wansi w’ekitundu PROGRAMU EZ’ENJAWULO N’EBIBADDEWO, kubaako okwogera okukwata ku Kyawandiikibwa eky’olunaku. Ddi lwe wasembayo okuwuliriza okwogera okwo? Oboolyawo ebimu ku ebyo ebyayogerwako bye wali weetaagira ddala. Ng’ekyokulabirako, bye tusoma ku Lutti biyinza bitya okukwata ku ngeri gy’osalawo?
MULABE VIDIYO, TEMWAGALANGA NSI (1YO 2:15), OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Okwogera okwo okukwata ku Kyawandiikibwa eky’olunaku kwesigamiziddwa ku musingi ki oguli mu Bayibuli?
Ebyatuuka ku Lutti bituyigiriza ki ku kabi akali mu kwagala ensi n’ebintu ebigirimu?—Lub 13:12; 14:12; 19:3, 12, 13, 24-26
Tuyinza tutya okukiraga nti twagala Yakuwa so si ensi oba ebintu ebiri mu nsi?
Nnyinza ntya okukiraga olunaku lwonna nti nsiima Ekigambo kya Yakuwa?