OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Weeteeseteese?
Singa akatyabaga kagwawo mu kitundu kyo, kanaakusanga okeetegekedde? Musisi, emiyaga egy’amaanyi, omuliro, n’amataba bisobola okubaawo ekiseera kyonna era ne byonoona ebintu bingi. Okugatta ku ebyo, obutujju, obutabanguko, n’endwadde ez’amaanyi bisobola okubaawo awantu wonna era ekiseera kyonna. (Mub 9:11) Tetusaanidde kulowooza nti ebintu ng’ebyo tebiyinza kubaawo mu kitundu kyaffe.
Buli omu ku ffe asaanidde okubaako ky’akolawo okwetegekera akatyabaga. (Nge 22:3) Wadde ng’ekibiina kya Yakuwa kirina obuyambi bwe kiwa abo ababa bakoseddwa obutyabaga, ekyo tekitegeeza nti ffe kinnoomu tetulina kye tuyinza kukolawo okubwetegekera.—Bag 6:5, obugambo obuli wansi.
MULABE VIDIYO, WEETEGEKEDDE AKATYABAGA? OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Okuba abanywevu mu by’omwoyo kiyinza kitya okutuyamba nga waguddewo akatyabaga?
Lwaki kikulu . . .
• okuba n’empuliziganya ennungi n’abakadde ng’akatyabaga tekannagwawo, nga kaguddewo, era n’oluvannyuma lw’akatyabaga?
• okuteekateeka by’onookozesa ng’akatyabaga kaguddewo?—g17.5 lup.6
• okumanya obutyabaga obw’enjawulo obuyinza okugwaawo era n’eky’okukola mu buli mbeera?
Bintu ki ebisatu bye tusobola okukola okuyamba abo abakoseddwa obutyabaga?