OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Mubeere Bavumu ng’Enkomerero Egenda Esembera
LWAKI KIKULU?: Waliwo ebintu ebinaatera okubaawo ebijja okutwetaagisa okuba abavumu n’okulaga obanga twesiga Yakuwa. Ekibonyoobonyo ekinene kijja kutandika n’okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba. (Mat 24:21; Kub 17:16, 17) Mu kiseera ekyo, kiyinza okutwetaagisa okulangirira obubaka obw’omusango. (Kub 16:21) Googi ow’e Magoogi ajja kutulumba. (Ezk 38:10-12, 14-16) Naye Yakuwa ajja kulwanirira abantu be ku ‘lutalo olujja okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.’ (Kub 16:14, 16) Okusobola okuba abavumu mu kiseera ekyo ekijja okuba ekizibu ennyo, kitwetaagisa okwoleka obuvumu nga twolekaganye n’ebizibu bye tufuna mu kiseera kino.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Nywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa.—Is 5:20
Weeyongere okusinziza awamu ne bakkiriza banno.—Beb 10:24, 25
Goberera obulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa.—Beb 13:17
Fumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yanunulamu abantu be mu biseera eby’edda.—2Pe 2:9
Sabanga Yakuwa, era mwesige.—Zb 112:7, 8
MULABE EKITUNDU EKYAGGIBWA MU VIDIYO ERINA OMUTWE, EBINAABAAWO MU MAASO EBIJJA OKUTWETAAGISA OKUBA ABAVUMU, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Obuwulize bw’ab’oluganda bwagezesebwa butya ekibiina kyabwe bwe kyagattibwa ku birala?
Kakwate ki akaliwo wakati w’obuvumu n’okuba abawulize?
Lwaki kijja kutwetaagisa okuba abavumu ku lutalo Amagedoni?
Weeteekereteekere kati ebinaabaawo mu maaso ebijja okutwetaagisa okuba abavumu
Byakulabirako ki ebiri mu Bayibuli ebiyinza okutuyamba okweyongera okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutulokola?—2By 20:1-24