EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUVA 15-16
Tendereza Yakuwa Okuyitira mu Nnyimba
Ennyimba zisobola okukwata ku birowoozo byaffe ne ku nneewulira yaffe. Okuyimba tukutwala nga kukulu nnyo mu kusinza kwaffe.
Musa n’Abayisirayiri baayimba ennyimba ezitendereza Yakuwa olw’okubanunula ng’abayisa mu Nnyanja Emmyufu
Kabaka Dawudi yalonda abasajja 4,000 okukubanga ebivuga n’okuyimba ku yeekaalu
Ekiro ekyasembayo Yesu alyoke attibwe, ye n’abatume be baayimba ennyimba ezitendereza Yakuwa
Ddi lwe nnyinza okuyimba ennyimba ezitendereza Yakuwa?