EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Engeri Okukkiriza Gye Kutuyamba Okuba Abavumu
Abakessi abaawa amawulire amabi tebaalina kukkiriza (Kbl 13:31-33; 14:11)
Abakessi ekkumi abataalina kukkiriza baamalamu baganda baabwe amaanyi (Kbl 14:1-4)
Abakessi abaayoleka obuvumu baalina okukkiriza okw’amaanyi (Kbl 14:6-9; w06 10/1 lup. 16 ¶5-6)
Emabegako, Abayisirayiri baali balabye nga Yakuwa abanunula. Ekyo kyandibaleetedde okweyongera okukkiririza mu Yakuwa nti yandibayambye okutwala ensi ya Kanani.