EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Okuba Omwetoowaze Kisinga Okuba ow’Amalala
Gidiyoni yali mwetoowaze, era ekyo kyamuyamba okuleetawo emirembe (Bal 8:1-3; w00-E 8/15 lup. 25 ¶3)
Olw’okuba yali mwetoowaze, yayagala abantu bagulumize Yakuwa mu kifo ky’okugulumiza ye (Bal 8:22, 23; w17.01 lup. 20 ¶15)
Amalala gaaviirako Abimereki okwereetera ebizibu, era n’okubireetera abalala (Bal 9:1, 2, 5, 22-24; w08 2/15 lup. 9 ¶9)
Okuba abeetoowaze kinaatuyamba kitya ng’omuntu gwe tubuulira atukambuwalidde?