Kabaka Sulemaani ng’alambula omulimu gw’okuzimba yeekaalu okulaba we gutuuse
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Baazimba n’Omutima Gwabwe Gwonna
Sulemaani bwe yali azimba yeekaalu, yakozesa eby’okuzimbisa ebisingayo obulungi (1Sk 5:6, 17; w11-E 2/1 lup. 15)
Abantu bangi beenyigira mu mulimu gw’okuzimba (1Sk 5:13-16; it-1-E lup. 424; it-2-E lup. 1077 ¶1)
Omulimu gw’okuzimba yeekaalu gwatwala emyaka musanvu (1Sk 6:38; laba ekifaananyi ekiri kungulu)
Sulemaani n’abantu be yali akola nabo baasobola okuzimba yeekaalu amatiribona ey’okusinzizaamu Yakuwa, kubanga omulimu ogwo baagukola n’omutima gwabwe gwonna. Eky’ennaku, ab’emirembe egyaddawo tebaali banyiikivu mu kusinza Yakuwa. Tebaalabirira yeekaalu eyo, era oluvannyuma yazikirizibwa.
WEEBUUZE, ‘Biki bye nkola ebinansobozesa okweyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu?’