OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Kuumanga Omutima Gwo”
Sulemaani yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Kuumanga omutima gwo okusinga ekintu ekirala kyonna.” (Nge 4:23) Eky’ennaku, abantu ba Katonda, Abayisirayiri, tebaaweereza Yakuwa “n’omutima gwabwe gwonna.” (2By 6:14) Ne Kabaka Sulemaani yaleka bakazi be abagwira okuleetera omutima gwe okugoberera bakatonda abalala. (1Sk 11:4) Oyinza otya okukuuma omutima gwo? Ekyo kye kyayogerwako mu kitundu ekyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 2019, olupapula 14-19.
MULABE VIDIYO, EBY’OKUYIGA OKUVA MU OMUNAALA GW’OMUKUUMI—KUUMANGA OMUTIMA GWO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Biki ebyandinafuyizza okukkiriza kw’Abakristaayo bano wammanga, era ebyo bye baayiga mu kitundu ekyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi byabayamba bitya okukuuma omutima gwabwe?
Brent ne Lauren
Umjay
Happy Layou
Ekitundu ekyo kyakuyamba kitya?