LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb23 Maayi lup. 5
  • Weeteekeddeteekedde Embeera y’Eby’Enfuna Enzibu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weeteekeddeteekedde Embeera y’Eby’Enfuna Enzibu?
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Similar Material
  • Weeteeseteese?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Sigala nga Weetegese mu Nnaku Ezisembayo ‘ez’Ennaku ez’Enkomerero’
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Weeteekeddeteekedde Obutabanguko Obuyinza Okubaawo mu Kitundu Kyammwe?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Okusalawo mu Ngeri Eraga nti Twesiga Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
mwb23 Maayi lup. 5

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Weeteekeddeteekedde Embeera y’Eby’Enfuna Enzibu?

Eby’enfuna mu nsi bwe bigootaana tekitwewuunyisa. Lwaki? ­Kubanga tuli mu nnaku ezisembayo ez’ennaku ez’enkomerero era Bayibuli etukubiriza obutassa ssuubi lyaffe “mu by’obugagga ebitali bya lubeerera.” (1Ti 6:17; 2Ti 3:1) Kiki kye tuyigira ku Kabaka Yekosafaati ekiyinza okutuyamba okwetegekera obuzibu bw’eby’enfuna obuyinza okugwaawo?

Amawanga bwe gaatiisatiisa okulumba Yuda, Yekosafaati yeesiga Yakuwa. (2By 20:9-12) Ate era alina ebintu ebirala bye yakola, gamba ng’okuzimba ebigo okwetooloola ebibuga n’okussa enkambi z’abasirikale mu bibuga. (2By 17:1, 2, 12, 13) Okufaananako Yekosafaati, naffe tusaanidde okwesiga Yakuwa era ne tubaako kye tukolawo okweteekerateekera ebiseera ebizibu.

BIKI BYE TUSOBOLA OKUKOLA OKWETEEKERATEEKERA OBUZIBU BW’EBY’ENFUNA OBUYINZA OKUGWAAWO?

Weeteeketeeke mu by’omwoyo: Beera mumativu ne by’olina era weeyongere okuba omukakafu nti Yakuwa asobola okukola ku byetaago byo ebya buli lunaku. (Mat 6:26; 1Ti 6:8) Beera mumalirivu obutamenya misingi gya Bayibuli olw’okwagala okukola ku byetaago byo. (Bar 2:21) Lowooza ku ngeri gy’oyinza okweyongera okufuna emmere ey’eby’omwoyo nga tewali masannyalaze oba Intaneeti. Baako ebitabo ebitonotono ebikube mu kyapa by’otereka, era bwe kiba kisoboka, baako n’ebirala by’owanula okuva ku mukutu.

Weeteeketeeke mu by’omubiri: Kendeeza ku mabanja era weewale okusaasaanya ssente ekiteetaagisa ne mu kiseera ng’embeera y’eby’enfuna tennagootaana. (Nge 22:7) Bwe kiba kisoboka, baako emmere gy’otereka, n’ebintu ebirala ebyetaagisa. Abamu basimba enva endiirwa okusobola okukendeeza ku nsaasaanya yaabwe.

MULABE VIDIYO WEETEGEKEDDE AKATYABAGA? OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:

Ebifaananyi biggiddwa mu vidiyo “Weetegekedde Akatyabaga?” obufaananyi obutono bulaga Bayibuli, ensawo ey’ebigwa bitalaze, essimu, n’abazimbi.
  • Kiki buli omu ky’asobola okukola okweteekerateekera akatyabaga?

Ebifaananyi biggiddwa mu vidiyo “Weetegekedde Akatyabaga?” Ab’oluganda abayamba abakoseddwa akatyabaga, nga bazimba era batikkula ebintu ebiweereddwayo okudduukirira abo abakoseddwa.
  • Tuyinza tutya okweteekateeka okuyamba abalala nga waguddewo akatyabaga?

EKY’OKUKOLAKO

Mu kusinza kw’amaka, mwejjukanye ebyo ebiri mu Zuukuka! Na. 1 2022. Mwogere ku bintu ebirala bye musobola okukola okweteekerateekera akatyabaga.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share