OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Baako ky’Oterekawo”
Tetulina kubaako ekyo kye tuwaayo olwo lwokka lwe tuba tujjukidde. Tulina ‘okubangako ne kye tuterekawo’ okusobola okuwaayo ng’omutume Pawulo bwe yagamba. (1Ko 16:2) Bwe tukola tutyo, kituyamba okuwagira okusinza okulongoofu era kituleetera essanyu. Wadde tuyinza okulowooza nti bye tuwaayo bitono nnyo, Yakuwa asiima nnyo bwe tumuwa kyeyagalire ku bintu byaffe eby’omuwendo.—Nge 3:9.
MULABE VIDIYO MWEBALE OKUBAAKO NE KYE MUTEREKAWO OKUSOBOLA OKUWAAYO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Miganyulo ki egiri mu kubaako ne ssente ze tuterekawo okusobola okuwaayo eri Yakuwa?
Abamu bakoze ki okubaako ne ‘kye baterekawo’ okusobola okuwaayo?