Abantu tebasobola kumalawo ntalo
Engeri Entalo gye Zijja Okumalibwawo
Bayibuli eraga nti Katonda y’ajja ‘okumalawo entalo mu nsi yonna,’ so si bantu.—Zabbuli 46:9.
KATONDA AJJA KUGGYAWO GAVUMENTI Z’ABANTU
Katonda ajja kuggyawo gavumenti z’abantu ku lutalo Bayibuli lw’eyita Amagedoni.a (Okubikkulirwa 16:16) Ku lutalo olwo, olujja okubaawo “ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna,” “bakabaka b’ensi yonna” bajja kukuŋŋaana okulwana. (Okubikkulirwa 16:14) Olutalo lwa Katonda olwo oluyitibwa Amagedoni, lwe lugenda okumalawo entalo zonna mu nsi.
Obwakabaka bwa Katonda bwe bujja okudda mu kifo kya gavumenti z’abantu. Bujja kufugira mu ggulu era tebujja kuzikirizibwa. (Danyeri 2:44) Katonda yalonda Omwana we Yesu, okuba Kabaka w’Obwakabaka obwo. (Isaaya 9:6, 7; Matayo 28:18) Obwakabakab obwo, bwebwo Yesu bwe yagamba abagoberezi be okusaba nti bujje. (Matayo 6:9, 10) Abantu mu nsi yonna bajja kuba bafugibwa gavumenti emu era nga Kabaka waayo ye Yesu.
Obutafaananako bafuzi abaliwo leero, Yesu ajja kukozesa obuyinza bwe okukola ebigasa abalala. Olw’okuba mwenkanya era tasosola, tewali muntu yenna ajja kuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya olwa langi ye oba olw’eggwanga lye. (Isaaya 11:3, 4) Ate era abantu tekijja kubeetaagisa kulwanirira ddembe lyabwe. Lwaki? Kubanga Yesu ajja kuba afaayo ku buli muntu. Bayibuli egamba nti: “Anaanunulanga abaavu abawanjaga, n’abanaku era na buli atalina amuyamba. . . . Anaabawonyanga okunyigirizibwa era n’ebikolwa eby’obukambwe.”—Zabbuli 72:12-14.
Obwakabaka bwa Katonda bujja kusaanyaawo eby’okulwanyisa nnamuzisa ebiri mu nsi. (Mikka 4:3) Ate era bujja kuzikiriza abantu abatayagala kulekera awo kulwana era abatabangula emirembe. (Zabbuli 37:9, 10) Abantu bonna ku nsi bajja kuba mu mirembe.—Ezeekyeri 34:28.
Buli muntu ajja kuba mu bulamu obulungi ng’Obwakabaka bwa Katonda bufuga. Bujja kuggyawo ebintu byonna ebireetera abantu okulwana gamba ng’obwavu, enjala, n’obutaba na wa kusula. Buli muntu ajja kuba n’emmere emumala era ajja kuba n’aw’okusula awalungi.—Zabbuli 72:16; Isaaya 65:21-23.
Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo ebintu ebibi byonna ebireeteddwawo entalo, gamba ng’obulumi abantu bwe bafuna olw’okutuusibwako ebisago n’olw’okukosebwa mu birowoozo. Abantu abaafa nabo bajja kuzuukizibwa. (Isaaya 25:8; 26:19; 35:5, 6) Abantu bajja kuddamu okubeera n’ab’eŋŋanda zaabwe era ebintu byonna ebireetera abantu obulumi ‘biriba biweddewo.’—Okubikkulirwa 21:4.
KATONDA AJJA KUGGYAWO EKIBI
Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga, abantu bonna bajja kusinza Yakuwac Katonda omu yekka ow’amazima, era “ow’okwagala n’emirembe.” (2 Abakkolinso 13:11) Abantu bajja kuyiga okubeera awamu mu mirembe. (Isaaya 2:3, 4; 11:9) Abo abakolera ku ebyo bye bayiga bajja kuba tebakyalina kibi, era nga batuukiridde.—Abaruumi 8:20, 21.
KATONDA AJJA KUZIKIRIZA SITAANI NE BADAYIMOONI
Obwakabaka bwa Katonda bujja kuzikiriza Sitaani ne badayimooni, abaleetera abantu okulwanagana. (Okubikkulirwa 20:1-3, 10) Bwe banaazikiriibwa, ‘emirembe gijja kuba mingi nnyo.’—Zabbuli 72:7.
Ba mukakafu nti ekisuubizo kya Katonda eky’okumalawo entalo kijja kutuukirira. Asobola okumalawo entalo era ayagala okuzimalawo.
Katonda alina amagezi n’amaanyi ageetaagisa okusobola okumalawo entalo n’ebikolwa eby’obukambwe. (Yobu 9:4) Tewali kisobola kumulema.—Yobu 42:2.
Katonda tayagala kulaba bantu nga babonaabona. (Isaaya 63:9) Ate era “akyawa omuntu yenna ayagala ebikolwa eby’obukambwe.”—Zabbuli 11:5.
Bulijjo Katonda atuukiriza ky’aba ayogedde. Tayinza kulimba.—Isaaya 55:10, 11; Tito 1:2.
Mu biseera eby’omu maaso, ajja kuleetawo emirembe egya nnamaddala era egy’olubeerera.
Katonda ajja kumalawo entalo
a Soma ekitundu ekirina omutwe, “Olutalo Amagedoni kye Ki?” ku jw.org.
b Laba vidiyo erina omutwe, Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki? ku jw.org.
c Yakuwa lye linnya lya Katonda.—Zabbuli 83:18.