EKITUNDU EKY’OKUSOMA 13
OLUYIMBA 4 “Yakuwa Ye Musumba Wange”
Omukono gwa Yakuwa Si Mumpi
“Omukono gwa Yakuwa mumpi?”—KUBAL. 11:23.
EKIGENDERERWA
Ekitundu kino kigenda kutuyamba okweyongera okwesiga Yakuwa nti ajja kutuwanga bye twetaaga.
1. Musa yakiraga atya nti yali yeesiga Yakuwa bwe yakulemberamu Abayisirayiri okuva e Misiri?
MUSA y’omu ku bantu aboogerwako mu kitabo ky’Abebbulaniya abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi. (Beb. 3:2-5; 11:23-25) Yayoleka okukkiriza okw’amaanyi bwe yakulemberamu Abayisirayiri okuva e Misiri. Ng’ekyokulabirako, teyatya Falaawo n’eggye lye ery’amaanyi. Ate era olw’okuba yali yeesiga Yakuwa, yakulemberamu Abayisirayiri nga bayita mu Nnyanja Emmyufu era n’oluvannyuma nga bayita mu ddungu. (Beb. 11:27-29) Abayisirayiri abasinga obungi bwe baatandika okubuusabuusa nti Yakuwa yali asobola okubalabirira, ye Musa yeeyongera okumwesiga nti asobola okubalabirira. Musa teyeesigira bwereere Yakuwa, kubanga Yakuwa yasobola okufunira abantu be emmere n’amazzi mu ddungu eryo eryali ekkalu ennyo.a—Kuv. 15:22-25; Zab. 78:23-25.
2. Lwaki Yakuwa yabuuza Musa nti: “Omukono gwa Yakuwa mumpi”? (Okubala 11:21-23)
2 Kyokka wadde nga Musa yalina okukkiriza okw’amaanyi, nga wayise omwaka nga gumu ng’Abayisirayiri bavudde e Misiri, yabuusabuusa obanga Yakuwa yali asobola okuwa abantu be ennyama. Yeebuuza engeri Yakuwa gye yandifuniddemu abantu abo abaali abangi ennyo ennyama nga bali mu ddungu. Yakuwa yaddamu Musa ng’amubuuza nti: “Omukono gwa Yakuwa mumpi?” (Soma Okubala 11:21-23.) Mu kyawandiikibwa ekyo, ebigambo “omukono gwa Yakuwa” bitegeeza omwoyo gwa Katonda omutukuvu, oba amaanyi g’akozesa okukola ebintu. Mu ngeri endala, Yakuwa yali ng’abuuza Musa nti, ‘Ddala olowooza nti sisobola kukola ekyo kye mba ŋŋambye nti nja kukola?’
3. Lwaki tusaanidde okwekenneenya ebikwata ku Musa n’Abayisirayiri?
3 Wali weebuuzizzaako obanga Yakuwa asobola okukola ku byetaago byo n’eby’ab’omu maka go? Ka kibe nti ekyo kituufu oba nedda, ebyo ebikwata ku Musa n’Abayisirayiri abaabuusabuusa nti Yakuwa yali asobola okubalabirira birina kye bituyigiriza. Tugenda kulabayo ebimu ku byawandiikibwa ebinaatuyamba okweyongera okwesiga Yakuwa nti bulijjo ajja kutulabiriranga.
YIGIRA KU MUSA N’ABAYISIRAYIRI
4. Lwaki abantu bangi baatandika okubuusabuusa nti Yakuwa yali asobola okubawa bye baali beetaaga?
4 Lwaki Abayisirayiri bangi baatandika okubuusabuusa nti Yakuwa yali asobola okubawa bye baali beetaaga? Abayisirayiri awamu ‘n’ekibiina ekinene’ eky’abantu abataali Bayisirayiri baali bamaze ekiseera kiwanvu mu ddungu nga bavudde e Misiri bagenda mu Nsi Ensuubize. (Kuv. 12:38; Ma. 8:15) Ekibiina ky’abantu abataali Bayisirayiri awamu n’Abayisirayiri bangi beetamwa emmaanu era ne batandika okwemulugunya eri Musa. (Kubal. 11:4-6) Baatandika okuyoya eby’okulya bye baalyanga e Misiri. Olw’okuba abantu abo baali beemulugunyiza Musa, kirabika Musa yalowooza nti yalina okubafunira ennyama naye nga tamanyi wa kugiggya.—Kubal. 11:13, 14.
5-6. Kiki kye tuyigira ku ngeri Abayisirayiri gye baatwalirizibwamu endowooza y’abantu abataali Bayisirayiri?
5 Kirabika Abayisirayiri baatwalirizibwa endowooza y’abantu abataali Bayisirayiri abaali batasiima. Naffe tusobola okutwalirizibwa endowooza y’abantu abatasiima ne tulekera awo okusiima ebintu Yakuwa by’atuwa. Ekyo kisobola okubaawo singa naffe tutandika okwegomba obulamu bwe twalimu edda, oba singa tukwatirwa abalala obuggya olw’ebyo bye balina. Kyokka bwe tuyiga okuba abamativu, tuba basanyufu ka tube nga tuli mu mbeera ki.
6 Abayisirayiri bandibadde bakijjukira nti Katonda yali abasuubizza nti bwe bandituuse gye baali balaga, bandifunye ebintu ebirungi bingi. Ekisuubizo ekyo kyandituukiriziddwa nga batuuse mu Nsi Ensuubize, so si nga bakyali mu ddungu. Mu ngeri y’emu, mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byaffe ku bintu bye tutalina mu nteekateeka y’ebintu eno, tusaanidde kubissa ku bintu ebirungi Yakuwa by’asuubizza okutuwa mu nsi empya. Ate era tusaanidde okufumiitiriza ku byawandiikibwa ebisobola okutuyamba okweyongera okwesiga Yakuwa.
7. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti bulijjo Yakuwa asobola okutuyamba?
7 Naye era oyinza okuba nga weebuuza ensonga lwaki Yakuwa yabuuza Musa nti: “Omukono gwa Yakuwa mumpi?” Yakuwa ayinza okuba nga yali ayagala kuyamba Musa okukitegeera nti amaanyi ge tegaliiko kkomo, era nti asobola okugakozesa buli wantu wonna. N’olwekyo, wadde ng’Abayisirayiri baali mu ddungu wakati, yali asobola okubawa ennyama mu bungi. Mu butuufu, Yakuwa yayoleka amaanyi ge ng’akozesa “omukono ogw’amaanyi era ogugoloddwa.” (Zab. 136:11, 12) N’olwekyo, bwe tuba mu mbeera enzibu, tusaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa asobola okutuyamba, ka tube nga tuli ludda wa.—Zab. 138:6, 7.
8. Tuyinza tutya okwewala okukola ensobi abaali mu ddungu gye baakola? (Laba n’ekifaananyi.)
8 Yakuwa yatuukiriza kye yasuubiza, n’awa abantu be ennyama mu bungi. Yabasindikira obunyonyi obuyitibwa obugubi. Naye Abayisirayiri tebaasiima ekyo kye yabakolera. Mu kifo ky’ekyo, bangi ku bo baayoleka omululu. Baamala olunaku lulamba n’ekitundu nga bakuŋŋaanya obugubi bungi nnyo nga bwe kisoboka. Yakuwa yasunguwalira abo “abaayoleka omululu” era n’ababonereza. (Kubal. 11:31-34) Ekyo kituyigiriza ki? Tusaanidde okwegendereza tuleme okufuna omululu. Ka tube bagagga oba baavu, tusaanidde okumalira ebirowoozo byaffe ku kweterekera “eby’obugagga mu ggulu,” nga tunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa awamu ne Yesu. (Mat. 6:19, 20; Luk. 16:9) Bwe tukola bwe tutyo, tuba bakakafu nti Yakuwa ajja kutulabirira.
Bangi baakola ki nga Yakuwa abawadde ennyama nga bali mu ddungu, era ekyo tukiyigirako ki? (Laba akatundu 8)
9. Tuli bakakafu ku ki?
9 Ne leero Yakuwa ayamba abantu be. Naye ekyo kitegeeza nti tetusobola kubeera mu bwetaavu bwa ssente oba obw’emmere?b Nedda. Kyokka tusaanidde okuba abakakafu nti bulijjo Yakuwa asobola okutulabirira era ajja kutuyamba nga twolekagana n’ebizibu. Tuyinza tutya okukiraga nti twesiga Yakuwa nti ajja kutuyamba? Ka tulabeyo embeera za mirundi ebiri: (1) bwe tuba nga twetaaga ssente okulabirira ab’omu maka gaffe, ne (2) bwe tuba nga tweteekerateekera engeri gye tuneeyimirizaawo nga tukaddiye.
BWE TUBA NGA TWETAAGA SSENTE OKULABIRIRA AB’OMU MAKA GAFFE
10. Bintu ki ebiyinza okuviirako embeera yaffe ey’ebyenfuna okugootaana?
10 Ng’enkomerero egenda esembera, tusuubira embeera y’eby’enfuna okweyongera okukaluba. Obutabanguko obujjawo olw’eby’obufuzi, entalo, obutyabaga, oba ebirwadde eby’amaanyi, biyinza okutuviirako okufiirwa omulimu gwaffe, ebintu byaffe, oba amaka gaffe. Kiyinza okutwetaagisa okunoonya omulimu omulala mu kitundu mwe tubeera, oba tuyinza okulowooza ku ky’okusengukira mu kitundu ekirala awamu n’ab’omu maka gaffe tusobole okubalabirira. Kiki ekiyinza okutuyamba okusalawo mu ngeri eraga nti twesiga Yakuwa nti ajja kutulabirira?
11. Kiki ekiyinza okukuyamba ng’oyolekagana n’ebizibu by’ebyenfuna? (Lukka 12:29-31)
11 Ekintu ekisinga obukulu ky’osaanidde okukola kwe kutegeeza Yakuwa ebikweraliikiriza. (Nge. 16:3) Musabe akuwe amagezi osobole okusalawo obulungi n’okusigala ng’oli mukkakkamu, oleme “okweraliikirira” ennyo embeera gy’oyitamu. (Soma Lukka 12:29-31.) Mwegayirire akuyambe okuba omumativu n’ebyo bye weetaaga mu bulamu. (1 Tim. 6:7, 8) Noonyereza mu bitabo byaffe olabe ekyo ky’osobola okukola ng’oyolekagana n’ebizibu by’ebyenfuna. Bangi bagamba nti baganyuddwa nnyo mu vidiyo n’eby’okusoma ebiri mu ku mukutu gwaffe, jw.org, ebikwata ku bizibu by’eby’enfuna.
12. Bibuuzo ki Omukristaayo by’asaanidde okwebuuza ng’asalawo ekyo ekinaaganyula ab’omu maka ge?
12 Abamu bakkirizza okukola emirimu egibeetaagisa okugenda mu bitundu ebiri ewala okuva awali ab’omu maka gaabwe, naye bangi oluvannyuma bakizudde nti ekyo kye baba baasalawo tekyali kya magezi. Bwe wabaawo omulimu gw’oweereddwa, tolowooza ku kya ssente mmeka z’onoofuna kyokka, naye okusingira ddala lowooza ku ngeri omulimu ogwo gye gunaakwata ku nkolagana yo ne Yakuwa awamu n’ab’omu maka go. (Luk. 14:28) Weebuuze: ‘Kiki ekinaatuuka ku bufumbo bwaffe bwe nnaaba nga nkolera mu kitundu eky’ewala? Nnaasobola okubangawo mu nkuŋŋaana, mu kubuulira, n’okubaako awamu ne bakkiriza bannange?’ Bw’oba olina abaana, era osaanidde okwebuuza ekibuuzo kino ekikulu: ‘Nnaasobola ntya okukuliza abaana bange “mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa” nga sibeera nabo?’ (Bef. 6:4) Bw’oba ng’osalawo ku nsonga eyo, kolera ku ndowooza ya Yakuwa so si ku ndowooza z’ab’eŋŋanda zo oba mikwano gyo abatassa kitiibwa mu misingi gya Bayibuli.c Ow’oluganda Tony, abeera mu nsi emu eya Asiya, emirundi egiwerako yaweebwa emirimu egisasula obulungi mu nsi endala. Naye oluvannyuma lw’okusaba Yakuwa ku nsonga eyo era n’okugikubaganyaako ebirowoozo ne mukyala we, yasalawo obutagenda kukola mirimu egyo, era baasalawo okukendeeza ku nsaasaanya yaabwe. Tony agamba nti: “Nfunye enkizo okuyamba abantu abawerako okufuuka abaweereza ba Yakuwa, era n’abaana baffe baagala nnyo okuweereza Yakuwa. Ffenna ng’amaka tuyize nti bwe tukolera ku bigambo ebiri mu Matayo 6:33, Yakuwa aba ajja kutulabirira.”
NGA TWETEEKERATEEKERA ENGERI GYE TUNEEYIMIRIZAAWO NGA TUKADDIYE
13. Kiki kye tusaanidde okukola kati ekinaatuyamba okukola ku byetaago byaffe nga tukaddiye?
13 Bwe tuba tweteekerateekera engeri gye tuneeyimirizaawo nga tukaddiye, era tusaanidde okukiraga nti twesiga Yakuwa. Bayibuli etukubiriza okuba abakozi abanyiikivu tusobole okuba nga twetuusaako bye twetaaga ne mu biseera eby’omu maaso. (Nge. 6:6-11) Bwe kiba kisoboka, kirungi okubaako ssente ze tuterekawo ezinaatuyamba mu biseera eby’omu maaso. Ekituufu kiri nti ssente zisobola okutuyamba bwe tuba mu bwetaavu. (Mub. 7:12) Naye tetusaanidde kukitwala nti okunoonya ssente kye kintu ekisinga obukulu mu bulamu.
14. Bye tusoma mu Abebbulaniya 13:5 bisobola bitya okutuyamba nga twetegekera ebiseera byaffe eby’obukadde?
14 Yesu yagera olugero olulaga nti kya busirusiru omuntu okweterekera ssente naye nga si “mugagga mu maaso ga Katonda.” (Luk. 12:16-21) Tewali n’omu ku ffe amanyi kinaamutuukako nkya. (Nge. 23:4, 5; Yak. 4:13-15) Ate era Yesu yagamba nti abo bonna abaagala okufuuka abagoberezi be balina okuba abeetegefu okufiirwa ebintu byabwe. (Luk. 14:33) Ekyo kyennyini kye kyatuuka ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka abaali babeera mu Buyudaaya. Baafiirwa ebintu byabwe naye ne basigala nga basanyufu. (Beb. 10:34) Mu kiseera kyaffe, bakkiriza bannaffe bangi bafiiriddwa ssente, emirimu, oba ebintu byabwe olw’okugaana okubaako oludda lwe bawagira mu by’obufuzi. (Kub. 13:16, 17) Lwaki babadde beetegefu okukkiriza okufiirwa ebintu ebyo? Beesiga ekisuubizo kya Yakuwa kino ekigamba nti: “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.” (Soma Abebbulaniya 13:5.) N’olwekyo, wadde nga tukola kyonna ekisoboka okuterekawo ssente ezinaatuyamba nga tukaddiye, twesiga Yakuwa nti ajja kutuyamba singa tutuukibwako ekizibu kye tubadde tutasuubira.
15. Abazadde Abakristaayo basaanidde kuba na kigendererwa ki nga bakuza abaana baabwe? (Laba n’ekifaananyi.)
15 Mu bitundu by’ensi ebimu, okusingira ddala abafumbo bazaala abaana nga basuubira abaana abo okubalabirira nga bakaddiye. Naye Bayibuli egamba nti abazadde be basaanidde okuteekerateekera abaana baabwe. (2 Kol. 12:14) Kyo kituufu nti abazadde bwe bagenda bakaddiwa, bayinza okwetaaga abaana baabwe okubalabirira mu by’ensimbi ne mu bintu ebirala, era abaana bangi ekyo bakikola n’essanyu. (1 Tim. 5:4) Naye abazadde abeesiga Yakuwa bakimanyi nti ekijja okusinga okubaleetera essanyu kwe kuyamba abaana baabwe okuweereza Yakuwa, mu kifo ky’okubakuza n’ekiruubirirwa eky’okukola ssente ennyingi basobole okubalabirira mu biseera eby’omu maaso.—3 Yok. 4.
Omwami n’omukyala abeesiga Yakuwa bakolera ku misingi gya Bayibuli nga basalawo ebikwata ku biseera byabwe ebyʼomu maaso (Laba akatundu 15)d
16. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okuyiga okweyimirizaawo? (Abeefeso 4:28)
16 Bw’oba oyamba abaana bo okuyiga engeri gye bayinza okweyimirizaawo gye bujja, balage nti weesiga Yakuwa. Okuviira ddala nga bakyali bato, balage nti kikulu nnyo okukola emirimu n’obunyiikivu. (Nge. 29:21; soma Abeefeso 4:28.) Bwe bagenda bakula, bayambe okukimanya nti kikulu okussaayo omwoyo ku ebyo bye bayigirizibwa ku ssomero. Abazadde basaanidde okunoonyereza bazuule emisingi gya Bayibuli gye basobola okukozesa okuyamba abaana baabwe nga basalawo buyigirize ki bwe banaafuna. Abazadde bwe bakola bwe batyo, bayamba abaana baabwe okweyimirizaawo nga bwe baweereza Yakuwa mu bujjuvu.
17. Tuli bakakafu ku ki?
17 Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bakakafu nti Yakuwa asobola okukola ku byetaago byabwe eby’omubiri era nti ekyo ayagala nnyo okukikola. Gye tukoma okusemberera enkomerero, gye kikoma okutwetaagisa ennyo okwesiga Yakuwa. Ka kibe ki ekibaawo, tusaanidde okuba abamalirivu okwesiga Yakuwa nti ajja kukola ku byetaago byaffe eby’omubiri. Tuli bakakafu nti Yakuwa asobola okutuyamba ka tube nga tuli ludda wa.
OLUYIMBA 150 Noonya Katonda Akununule
a Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 2023.
b Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ssebutemba 15, 2014.
c Laba ekitundu “Tewali n’Omu Asobola Kuba Muddu wa Baami Babiri” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 15, 2014.
d EBIFAANANYI: Ow’oluganda ne mukyala we nga bawuliziganya ne muwala waabwe omu gwe baazaala, aweerereza awamu n’omwami we nga bazimba Ekizimbe ky’Obwakabaka.